Isimbi alimu kye nneetaaga...!

By Musasi wa Bukedde

NZE Omulangira Uthuman Musoke, nina emyaka 27 nga mbeera Mengo - Kakeeka era nga ndi kafulu mu kukuba ebifaananyi.

Wano 350x210

Ne bwe mundaba okunyirira bwenti nafuna ampisa nga bbebi era anfaako ng’ono si mulala wabula ye Isimbi omwana we Rwanda naye nga bamuzaala Masaka.

Nnasisinkana Isimba ne tusiimagana era nga tumaze naye emyaka ebiri n’ekitundu.

Ndabye abawala abalungi bangi n’abammenye omutima bangi naye naye okuva lwe nafuna Isimbi eby’okusaba nabivaako kati neebaza bwebaza kubanga omutima gwange gwatuuka awaka.

Omwaka guno nga Mukama ye mubeezi wange, musaba akkirize nkyaleko mu bakadde be nsobole okubeebaza n’okubasiima olw’okuzaala n’okukuza omuwala alina empisa ate nga yabuulirirwa bulungi.

Njagala okusuubiza Isimbi nti tagezaangako okulowooza nti lulikya ne musuulawo kubanga ye muwala asaana okwagalwa nga tozikiza.

Njagala n’okutwala omukisa guno okulabula abasajja abeeteseteese okunkuba bbusu nti munoonyeko ku kibanja awalala kubanga ono namwekwata era ndi mwetegefu okufa nooyo ayinza okumunnemesa kubanga twakola endagaano y’omukwano nga tewali alina kugitabangula.