Kola bino owangaaze omukwano n'omwagalwa wo

By Musasi wa Bukedde

BW’OBA oyagala okusimba enva endiirwa oteekeddwa okuba n’ettaka ejjimu, era bwe litaba na bujimu bwetaagisa oteekwa okussaamu ebijimusa.

Arguing1 350x210

N’omukwano bwe gutyo bwe buli. Okuguwangaaza oteekeddwa okuguddaabiriza buli kiseera nga weewala ebyo ebiyinza okunyiiza munno. Ebimu ku bintu ebisatu buli omu by’ateekeddwa okwewala okugamba munne mulimu;

Ssinga obadde onjagala wandibadde onkolera kino oba kiri. Kino kibeera ng’ekiraga nti okakasiza ddala nti takwagala, ekiyinza obutaba kituufu.  Ate bw’oyogera bw’otyo kyangu naye okukuddamu nti; ‘Ssinga naawe obadde ofaayo tewandinsabye kukukolera kino oba kiri... ekivaamu oluusi luba lusirika ekitali kirungi ku laavu yammwe.

Lwaki tetukyali nga bwe twabanga edda? Kino kiraga nti olwanagana n’amazima nti bwe mulwawo omukwano gukendeera. 

Bw’oba okipimidde ku ky’okuba nga temukyagenda kucakala nga bwe kyabanga, kirungi obeere mwanjulukufu omugambe nti oyagala kugenda kucakala, okusinga okwetooloola.

Weeyisa nga maama oba taata wo. Okuggyako ng’omuwaana, naye bw’oba omunenya ku neeyisa ye, tajja kukitwala bulungi era kyangu okuvaamu oluyombo.

Ggwe kiki kye watandyagadde mwagalwa wo kukugamba nga kikukuulako waya?