Ebivaako abawala okugaana abalenzi

By Musasi wa Bukedde

OKWEGOMBA kyabulijjo mu bantu wakati w’abawala n’abalenzi era ekitonde ekisajja kyo kyakolebwa nga kiriwo okukwana ekikyala.

Blackcoupleangryfighting620330 350x210

Kyokka emirundi egimu abawala bagaana abalenzi ababakwana ekibaleetera okulumwa wadde ng’olumu n’abawala baba balina ensonga zaabwe. Zino wammanga ze zimu ku nsonga ezibaleetera okubagaana.

  1. Ebizibu bye baafunira mu mukwano omukadde Abawala abamu bagaana abalenzi ababeera babakwanye si lwakuba nti tebabasaanira naye olw’okuba batya okuddamu okugwa mu bizibu bye yalimu.
  2. Okutya okutambuza omukwano. Abawala abamu bagaana balenzi ababa babakwanye olw’okuba batya obuvunaanyizibwa bw’okutambuza omukwano omuli okwewaayo n’okwerekereza.
  3. Abavubuka abamu tebaba na buvumu mu kukwana. Abavubuka abamu omuwala ne bw’aba yandimwagadde yeekanaga amugaanyi olw’obutitiizi bwe balaga nga babakwana omuwala n’amanya nti gwaliko tajja kusobola.
  4. Okukola ebintu ng’okyali mu kugezesebwa. Okugaanibwa tekutera kubeerawo ku lunaku lw’osooka okukwana omuwala wabula emirundi egimu omuwala asobola okuwa omukisa ne mutuukako ne mu kisenge naye bw’olemwa okukola ebintu mu butuufu bwabyo weekanga ogaaniddwa.
  5. Okukwana omukyala atali wa kiraasi yo. Abavubuka abamu tebeepimira nga bakwana abawala ne batuuka n’okukwana abawala abatali ba kiraasi zaabwe ekivaamu kugaanibwa.
  6. Endabika Abawala bwe baba baagala abalenzi emirundi egisinga nga tebannaba na kumanya kiki kikwata ku mulenzi, asooka kutunula ku ndabika ng’ennyambala, ffeesi ekikula n’ebirala era bw’atabisiima akugaana.
  7. Obuyonjo; Abavubuka abamu tebeefaako nga batuuka n’okukwana omuwala nga mukyafu, okugeza engoye ziyinza okuba njoze naye enviiri nga sinsale, amannyo amajama nga n’olusu lumufubutukamu.
  8. Enjogera Abavubuka abamu baboggoka nnyo mu mbeera zaabwe eza bulijjo. Kino batuuka n’okutitwala mu kukwana abawala n’aweetaagisa okugonza olulimi n’asigala nga akyakalubya.’ Okupapira akaboozi; Wadde ng’abawala bangi ensangi zino waliwo abamu abataagala mulenzi apapa era bw’okikola agaana