Nnoonyezza omwana akyambuze

By Musasi wa Bukedde

NDI muwala wa myaka 20 , nnina omwami naye omwana abuze, nkole ntya?

Ssenga1 350x210

MWEGATTA emirundi emeka? Era wali ogezezzaako okwegata mu nnaku ng’osudde eggi.

Kubanga omusajja n’omukazi okukakasa nti tebasobola kuzaala, balina okwegatta kumpi buli lunaku okumala omwaka mulamba.

Kati omusajja gw’olina mumaze naye bbanga ki? Era mubadde mwegatta buli lunaku okugyako ng’oli mu nsonga?

N’ekirala, oluusi gwe oyinza okuba ng’ozaala naye ng’omusajja tazaala.

Nga talina magi mangi oba nga matono mu sayizi, oba nga tegakula bulungi. Kale oba olowooza nti oli mugumba n’omwami ayinza okubeera omugumba.

N’ekirala abakyala abamu beeraliikirira ekisusse ku nsonga eyo era n’omwana tasobola kukolebwa ng’omubiri gw’omukyala mweraliikirivu.

Oyinza okunkubira ku ssimu 0704808516 ne twogera ku nsonga eno.