Omukazi anaafumba omupimira ku nneeyisa mu byensimbi

By Musasi wa Bukedde

ABALENZI abakwana bino byammwe. Oba oyagala okusengejja mu bawala b’okwana okumanya omutuufu y’aliwa, kozesa kakodyo ka kukaaba ssente. Omuwala bw’aba malaaya, ye akwekubirawo.

Blackcoupleondate 350x210

Mbu yakoowa embeera embi. Era ayinza n’obutaddamu kukukubira ku ssimu mu biseera by’omugambiddemu nti ssente tolina bulungi, okutuusa lw’apima ng’ozifunye olwo n’addamu n’akubeera bubi akulowoozese nti akwagala bisoko nga bya ng’oma.

Bwamanya nti oli mukozi wa mwezi, buli lwe gutuuka mu nnaku 25, n’amanya nti onaatera okuyiikamu, ng’amera.

Bw’amanya nti oli wa dduuka, ajja kawungeezi kubanga abaza nti kati olina z’otunzeewo. Ne makanika bwatyo. Abaza nti kati waliwo abakusasuddeko n’alyoka alabika.

So ng’ate ye bambi omukazi akwagala ng’ayagala bufumbo, ne bw’omugamba bino byonna, ye ate akugumya bugumya.

Ne bw’omugamba nti tolina ssente ayinza okukusaba ekisumuluzo ky’enju yo agende agirongoose, akwoleze n’ebiringa ebyo.

Bw’omubuuza oba tatya kusiiba njala, akujuliza nga bwe munaalya ng’ofunye ssente.

Ow’ekika kino era bw’omutwalako awutu, ne bwe muba mugenda mu kafo ka bbeeyi, akuwa amagezi musooke mu k’essente entono mulye, olwo mugende wali awa ssente ennyingi nga mukkuutiriza bukkuutiriza.

Abandiriddeyo enkoko ennamba, mulyeyo ekifi kimu, ssente zammwe muzikekkereze. So ng’ate ye oli omuli wa ssente, ye akuwaga buwazi.

Y’aziga n’obufo obw’ebbeeyi n’akugamba bw’akutwalayo, so nga ggwe ojja okufulumya!