Obusajja bwange tebufuna maanyi

By Musasi wa Bukedde

OBUSAJJA bwange tebuyimuka bulungi. Mmaze ebbanga nga mbwetegereza ku makya naye tebufuna maanyi.

Ssenga1 350x210

Amaanyi g’ekisajja omusajja g’afuna ku makya tegenkana ne g’afuna nga yeegasse.

Amaanyi g’oku makya ga butonde kuba mu kiseera ekyo omubisi oguyitibwa ‘testetrone’ guba mungi nga gwe gusitula obusajja katono era ne buddayo.

Okuggyako ng’amanyi ago ogataddeko ebirowoozo olwo weesanga ng’ofunidde ddala amaanyi g’ekisajja agajja olw’obwagazi.

Amanyi agava mu bwagazi gava mu birowoozo omusajja by’abeera nabyo ng’alabye omuwala oba omukazi anaamusanyusa, n’atandika okubeera n’ebirowoozo ebyokwegatta.

Nze ndwowooza tolina kizibu, wabula ebirowoozo by’oteeka mu bwongo ye kanaalu-