Ebikuuma omukwano

By Musasi wa Bukedde

Waliwo ebintu abaagalana bye muyinza okukola okukuuma omukwano gwammwe nga gubugujja mwaka ku mwaka era munno n’atakwetamwa, wadde ggwe okumwetamwa.

Balungi 350x210

OMUKWANO bwe guba gutandika gusiiwa nga kavunza kato, anti buli lw’okatakulako n’owulira  obubalagaze ate obulimu okuwoomerera! Ekizibu nti embeera eno tebeerera, sso nga buli omu yandyadagge asigale ng’akyawulira embeera yeemu eno buli lw’abeera n’omwagalwa we. Nga buli lw’amulowoozaako emmeeme n’emutyemuukirira mu ngeri emusanyusa, oba mu lubuto n’awulira ng’omuli  ebyekyusa so nga mu butuufu temubaamu.

Waliwo ebintu abaagalana bye  muyinza okukola okukuuma omukwano gwammwe nga gubugujja mwaka ku mwaka era munno n’atakwetamwa, wadde ggwe okumwetamwa. Okugeza;

Mufune obudde obwejjukanya mu bibanyumira mu nsonga z’ekisenge. Mmanyi abasinga  kino tebakitwala ng’ekikulu naye kigezeeko. Munno mujjukize lwe yakutuuka awaakucamula era omujjukize n’ebyo bye yakola ebyakutuusa mu mbeera eno. Kino bw’onookikola, ojja kulaba nga naye asumulukuka era ajja kukubuulira naawe lwe wamutuuka awo wennyini w’ayagala. Mu mbeera eno mujja kulaba ng’obwagazi bulinnya mpolampola, era bwe munaaba mukikoze muyinza okutwazaako omwezi mulamba nga bye mukola bibanyumira.

Ebirala bye mulina okwekwata  mubirinde ku Lwokubiri