Ebikuuma omukwano nga gutinta

By Musasi wa Bukedde

Ekireetera abantu okwetamwa bannaabwe bwe butassaawo kya njawulo mu nsonga z'omukwano.

Romance30 350x210

Twatunuulidde ebiyamba abaagalana okukuuma omukwano mwaka ku mwaka ng’ensonga eyasoose yabadde ya kwewa obudde okwogera kwebyo ebyabasanyusa.

Ekirala kye mulina okussaako essira  kwe  kussaawo embeera eteeka laavu yammwe mu ggiya.  Okugeza, muyinza okukisalawo nti mu nnaku za wiikendi, ekisenge mukitegeka mu ngeri esikiriza era ejjukiza buli omu nti mulina okwesanyusa mu ngeri ey’enjawulo ng’abaagalana.

Essimu muzeesonyiwe, laptop togiggyaayo kutandika kukola ng’oli mu kisenge. Ekisenge n’ebirimu biyooyoote mu ngeri ey’enjawulo, ekinaabiro kikyuse endabika, leetayo obwokulya n’obwokunywa obw’enjawulo ate nga busikiriza obuteeke mu kisenge. Bino bwe muneemanyiiza okubikola oluvannyuma lw’ebbanga eggere, mujja kulaba ng’ebintu byekola byokka.

Oluusi ekireetera abantu okwetamwa bannaabwe bwe butassaawo mbeera ya njawulo. Omukyala ekitanda n’akitunuza mu kifo kimu mwaka ku mwaka, essuuka bwe zitamala kunnyogoga olwo tazikyusa, bulangiti gye yasanga n’omwami yeeyo, mwe batuuyanira buli lunaku, n’atalowooza nti esobola n’okwozebwa, talowooza nti waliyo n’obuwoowo bw’asobola okufuuyirako mu kisenge olw’olumu n’assaawo enjawulo!

Olwo munno anaasikirizibwa atya okujjula oluwombo lwo okumalako emyaka n’ebisiibo? Enkya tujja kwongera ku birala ebiyamba abaagalana okukuuma omukwano .