Munno mwebazeeko addemu amaanyi mu kisenge

By Musasi wa Bukedde

OMUKAZI akuwadde akaboozi omwebalizaawo nga tonnava mu buliri. Kubanga kino naye kimuwa amaanyi n’amanya nga bw’osiimye. Ate ne kimuwa amaanyi okwongera okussa ebirungo mu luwombo lwe ate by’onoosanga lwe munaddamu.

Blackcoupleinbedawkward 350x210

Naye abasajja bangi kino mukibuusa amaaso. Bwe mumalamu akagoba nga mufubutuka mu buliri nga munigguuka mugenda.

Munno tomugambye nako oba ewa ssenga yalwayo bulungi mu kuwunda abalongo, tomwebazizza kwewunda mu kiwato, oba njola oba butiiti, kwe kugamba n’omuleka mu masaηηanzira g’omukwano. Kye kiva kiba ekirungi abasajja okumanya ennyo empisa ze balina okwekuuma mu kaboozi omuli zino:

1 Omukazi omuleka n’asooka mu kitanda. Kubanga kino kimuyamba okukuuma ebbugumu erimubugumya naddala ery’omu bisambi mwe abasajja lye mwagala ennyo. Bwe biba si bya kwebikka, sooka omuweeweete. Era kino nakyo kikuuma ebbugumu mu mubiri gwe. So si kumugwira bugwizi. Togwira mugwire nga gw’okwata ekigwo.

2 Kwata ku byokwewunda bye yeetaddeko. Kubanga bye birungo by’ayagala bikuwe amaanyi. Bino bitera okuba abalongo, obutiiti, enjola, empeta n’obulengejja obufaanana obw’oku matu. Kino okikola nga bw’omwebaza nti, “munnange weebale okutegana...!”ate ng’okozesa eddoboozi erya laavu.

3 Mulinde akulage ekkubo. Kino kitegeeza nti ye kennyini okukwata ssemusajja n’amuyingiza waali. Kubanga awo naye aba akuwadde ekitiibwa n’okukwaniriza.

4 Bwe muba munyumya akaboozi musuuleyo obugambo obumuwaana. Osobola okumutegeeza nga bwali ekimyula, nga bw’alina ffi ga gy’oyagala oba nga bw’akuwadde aga kiyira amalungi nga naawe gakutanudde.

5 Bwe mumalamu akagoba, mukwate omunyweze mu kifuba kyo. Era nga bw’omwebaza nga byakoze byonna bwe bikusanyusizza. Nga bw’omuyita amannya naye agamuwa ku kyejo nga bbebi n’amalala.

Wabula okusinga ennyo abasajja muyige okulya oluwombo nga bwe munyumyako ne bannammwe abakazi ababa babawadde akaboozi. So temusirika busirisi. Buli lw’obaako ky’omugamba nga muli mu kaboozi, naye kimuwa amaanyi.

Oyinza n’okukozesa omukisa guno n’omwetondera bye wali omusobezza. Bino bye bireeta omukazi okukakkana ng’amaze akaboozi. Situleesi