Omuze gw'okwemazisa gunnemeddemu

By Musasi wa Bukedde

NDI Mulenzi wa myaka 22 naye omuze gw’okwemazisa gunnemeddeko, nkole ntya kubanga mpulira mbikooye, nnyamba.

Panta 350x210

Omuze tegusobola kukulemerako wabula ggwe ogwesibyeko. Teri muntu yazaalibwa nga mubbi oba nga musezi oba nga mutamiivu.

Gwe ng’omuntu otandika okukola ekintu naye bw’oba tofuddeeyo weesanga ng’ekintu kye watandika ng’osaaga gufuuka omuze. Obwagazi obw’ekivubuka bwe bwakuwaliriza okutandika okwemasiza.

Naye ate ffenna tulina obwongo nga kye kitundu ekisinga obukulu ku nsonga zino. Era olina obusobozi okufuga obwongo ne bugaana omuze guno okubeera mu bulamu bwo.

Kati nga bw’ofuga obwongo n’otokola ebintu ebisobola okukuswaza era bw’olina okukola. Omuze guno bwe guyitirira kifuuka ekizibu.

Anti otandika okwerowoozaako wekka era nga tosobola kwegatta na muntu n’omumatiza, kubanga omala mangu era toba mugumiikiriza.

N’ekirala okyali mwana muto era omuze guno oyinza okuguleka. Bw’owulira ng’olina obwagazi kitwale nti butonde era ne banno abali mu myaka gyo bakifuna.

Ebirowoozo olina okubiggya kwekyo ky’olowooza n’obiteeka ku kintu ekirala.