Ggayi annemeddeko ate nga simwagala!

By Musasi wa Bukedde

OMUSAJJA annemeddeko ate simwagala. Ankubira essiimu ng’antiisatiisa nti nalya ssente ze. Omusajja alina abakyala basatu. Baamundabira era ssenga wange n’amulyamu ssente nnyingi nga simanyi. Kati ssenga aηηamba nti nnina okumufumbirwa naye nze nnina omwami wange ali Bulaaya bw’akomawo nga mmwanjula. Bazadde bange tebabimanyiiko era bagamba nkole kye njagala ebya ssenga mbiveeko.

Ssenga1 350x210

Ekirungi bazadde bo embeera eno tebagimanyi ate nga be bakulinako obuyinza.

Naye bazadde bannange ssente nga zigenze wala? Otunda otya omwana wa munno nga tamanyi?

Naawe ssinga bakutunda owulira otya? Kati laba bw’oteeka omwana wa munno mu mbeera embi esobola n’okumuleetera obuzibu.

Genda ne bazadde bo kubanga kino kikuyamba ate era n’obukakafu ku ssimu obulaga nti akutiisa tiisa. Bajja kumuyita