Omukyala eyanoba ayagala kudda

By Musasi wa Bukedde

Mukyala wange yanoba ne ngezaako okumukomyawo n’agaana. Yagenda n’olubuto era kati yazaala, kati nnina okukuza ekizadde. Nga wayiseewo omwaka, nafuna omukyala omulala kati omukyala eyasooka ayagala kudda naye sikyamwagala. Bazadde be baagala akomewo naye saagala kumuzza. Nkoze ntya ssenga.

Ssenga1 350x210

Wagezaako okumukomyawo n’agaana era nsuubira nti n’abazadde be baakimanya, kati ate lwaki baagala akomewo afumbe?

Kiki ekibakyusizza mu ndowooza, ekyo olina okukyegendereza. Oba kati balaba ofunye ku ssente oba omwana waabwe atandise okubeera obubi.

Oba baali basuubira nti waliyo omusajja anaamutwala naye nga talabika? Abazadde bafuuse bazibu.

Abakyala abamu banoba nga balowooza nti olina ekifo kyabwe mu maakago.

Teri mukyala asobola kufumba mu maka ago okuggyako bo. Kati oba oli bulungi n’omukyala gwe wafuna era nga toyagala kuzza mukyala oyo, tomuzza.

Naye olina obuvunaanyizibwa ku mwana wammwe era kansuubire nti omukyala omuwa obuyambi. Kino kyakuyiga eri bakyala abeenobya.

Buli maka gabeera n’ebizibu naye olina okuba omugumiikiriza osobole okufumba n’okukuza abaana bo.

Abo beesonyiwe tebakuzza mabega, ekirungi wagezaako ne bagaana kati olina omukyala omulala.

Babuulire ekituufu tuluma mu bigambo. Ate bwe wabeerawo enkola ennuh− hamu ku mwana wammwe ayinza okukwonoonera obufumbo bwo.