Bw’akizudde nga tweddira gumu n’andekera omwana

By Musasi wa Bukedde

Nze Aisha Namatovu 25, mbeera mu Kisenyi Zooni mu muluka gw’e Bwaise 1 e Kawempe.

Take 350x210

Mu 2014, waliwo omuvubuka eyansisinkana ewa jjajja azaala maama mu Kisenyi, n’ansaba omukwano. Olw’okuba nali mu mbeera mbi, nalowooza nti nfunye omununuzi.

Namubuuza amannya ge era n’anziramu lya Ibrahim naye nti ery’ekika ajja kulimbuulira oluvannyuma kyokka ng’agange gombi yali agategedde era nti neddira Ngabi.

Ibrahim akolera mu matooke ku Kaleerwe, buli kye namusabanga ng’akimpa ng’ampita ‘Hanie’ n’oluusi ‘sweet’ olwo nange ne ngaziwa nti nfunye omusajja omutuufu gwe nasaba Katonda.

Yakomangawo ng’angulidde engoye ez’ebbeeyi nga n’ebyokulya n’okunywa tanjuza. Era abehhaanda zange nga banneesiimisa.

Olw’omukwano gwe twalina, yatuuka n’okuhhamba nga bwe yali ayagala okukyala ewaffe ekintu ekyasanyusa jjajja wange nga muwadde amawulire gano.

Mu mwaka gwe gumu mwe nafunira olubuto wano Ibrahim n’atandika okukyuka anti ng’aggyeyo emize gye era ekyavaamu kwali kunsuula mu muzigo we twali tupangisa mu Kulumba Zooni e Kawempe.

Oluvannyuma nanoonyereza baganda be era be bantegeeza nti baze ye yali Matovu. Natoba n’olubuto okutuusa lwe nnazaala kuba buli lwe namukubiranga essimu ng’anvuma. Omwana kati wa myaka ena.

Bwe nazzeemu okumukubira essimu ne mutegeeza ng’omwana bw’atuuse okusoma, n’anvuma ng’agamba nti siddamu kumukubira ssimu kuba n’omwana si y’amuzaala.

Ekinnuma nti sikola ntudde waka ewa jjajja kyokka simanyi ky’akukolera mwana.