Omukyala gwe nnafuna yamponya abayaaye

By Musasi wa Bukedde

OKWAGALA akwagala kisukka, omukwano ndabirwamu kweraba, hahaha, buli w’embeera ne mukyala wange, akayimba ka Zani Brown ako katukolera.

Tega 350x210

Nze Richard Rugumayo 30, mbeera Kavule Makerere nga ndi mufumbo n’abaana basatu era tumaze emyaka 11, naye buli lukya mukyala wange mulaba nga gwe nawasizza jjo.

Mukyala wange nali njagala tusooke tubeere babiri okumala emyaka ng’ebiri nga tetunnazaala naye olw’obugimu obungi mu ye, yafuna olubuto nga twakamala omwaka gumu gwokka era na kati nsuubira mwana owokuna mu bbanga ttono.

Sigenda kwerabira mu 2014 bwe namuleka mu nju okumala omwaka mulamba nga ηηenze mu kyalo okukola naye yakuuma obwesigwa n’okutuusa leero.

Abawala be nasooka okufuna baali bayaaye era nali mmanyi buli mukazi bw’ali naye ono yakomyawo emmeeme yange.

Mwenyumirizaamu kuba mugumiikiriza, mwesigwa, alina ebirowoozo ebizimba, mukazi eyanaaba olweza era ndaba nga tukulaakulana buli lukya.

Yansanga mu kazigo omutaali wadde ekintu okuleka ekitanda naye kati tuguze ne we tugenda okuzimba, era musuubiza bizinensi n’embaga makeke mu bbanga ttono ate n’okumwagala okutuusa okufa nga kutwawudde.