Ebyongera obwagazi

By Scovia Babirye

Buli lw'obaako by'ogamba munno nga muli mu kisenge bimwongera obwagazi.

Sextalk1a 350x210

Bya SCOVIA BABIRYE

OBADDE okimanyi nti okwogera  n’omwagala wo nga muli mu kaboozi kiyamba  okwongera munno obwagazi.

 Osobola okwogera ng’omugamba byoyagala akukole oba bwoyagala akukwatemu , okumuzannyisa gamba ng’okumunyonyoogera ekyo kimuleetera n’okkusaba enyongeza.

Oyinza n’okumunnyonnyola  engeri gyowomerwamu kiisi ze nengeri gyakuweweetamu n’obugambo bw’omukwano nabwo bwongera okusumulula mmuno nawulira nga tayagala oveewo.

 

ABANTU BYE BAGAMBA:

Faizal Magoola w'e Kibuli; Nze nayiga mukyala wange bwe tubeera mu kazannyo ayagala nnyo okumuwemula nga bwe mpaana ebitundu bye era bwe mutandika okumugamba naye yeeyongera obwagazi naddala ku mulundi ogwokubiri era abeera tayagala tumale. Ate simunoonya nnyo kuba ebigambo biri bye mugamba bimuggula mangu ate ng'obwagazi bubeera bunneeyongera.  

Scovia Atimw'e Bukasa;Nze bwe mbeeran'omwami wange tubeera twewaana nga bw'ambuulira nga bw'anyumirwa nga nange bwe muwaana ate tetweyIta mannya gaffe tubeera tweyita amannya nga baby, Sswiiti ate nga tweyogerera mu matu ne tufuna ennyonyoogeze.