Yinginiya weebale kundaga laavu gye nnali noonyeza mu Bazungu

By Musasi wa Bukedde

EKIROOTO kyange eky’okufumbirwa omusajja Omuzungu, Yinginiya Victor yakituukiriza kuba laavu gy’ampa yasukka ku gye nnali nnoonya mu kwagala okufuna Omuzungu. Nze musawo Slyvia Namaganda 30, mbeera Mukono.

Maka 350x210

Okusisinkana yinginiya kyalimu Katonda kuba okulabagana twerabira ku Faaza eyali mukwano gwaffe ffembi.

Lumu mba nnyumya ne Faaza n’antegeeza nga bw’anfunidde omusajja ne mugamba nze saagala musajja Muddugavu njagala Bazungu kubanga be bamanyi laavu eyannamaddala.

Yangamba nti n’oli kyenkana Muzungu kuba abeera mu Bazungu era buli ky’Abazungu akimanyi. Nalowooza akivuddeko naye ng’akyakiriko, Faaza yantwalangako “Out” naye nga tubeera n’abantu ab’enjawulo kye saamanya nti mu bantu be twabanga nabo omwami wange mwe yali.

Lumu waba wayiseewo ebbanga nga Faaza n’atusisinkanya n’omwami ono n’aηηamba nti y’ono omusajja gwe nakugamba omusiimye?

Awo we twatandikira okuva mu 2011 nga buli omu yeetegereza munne okutuusa 2014 bwe natuuka ne mukkiririzaamu.

Nalaba ng’ali siriyaasi ate nga n’omukwano ampa guli gwennyini gwe nnali nnoonya okufuna mu Bazungu okutuusa lwe yantwala ewuwe.

Kyensinga okumwebaza anjagala ne bye nnali sisuubira era laavu gy’ampa sisuubira nti nnali nsobola n’okugifuna mu Muzungu kuba musajja amanyi amapenzi, eyeewa ekitiibwa ate nga nange akimpa ate mu byonna musajja atya Katonda.

Bambi bwe ntandika okumwogerako nnyinza obutamala kuba yatuukiriza obuvunaanyizibwa bwonna omusajja omutuufu bw’alina okutuukiriza.

Yakkiriza ne mutwala ewaffe ne mwanjula ate era naye n’akkiriza n’ankuba embaga. Amazima ebbanga lye mmaze naye wadde bagamba omukwano gunnyuma bwe guba gutandika ku gwaffe eyo enjogera tekola kubanga buli olukya laavu yaffe yeeyongera.

Mukwano Victor nkwebaza okumbeererawo mu buli kimu ate era wadde wasoma bwayinginiya nkutwala ng’oli yinginiya w’obulamu bwange.

Nange nkusuubiza okukulabirira, okukwagala awatali kakwakkulizo konna n’okuba omwesigwa gyoli kuba nawe onjagadde mu mbeera yonna.