Omwana gwe nnazaala ebbali abizadde

By Musasi wa Bukedde

NZE Christine Anykoriti 21, ndi mutuuze w’e Kawempe mu Kisenyi Zooni. Ndi mufumbo naye nga ntudde ku kyoto oluvannyuma lwa baze, yinginiya w’amasannyalaze okukitegeera nti omwana asooka si wuwe.

Unity 350x210

Nasisinkana baze ono mu 2013 bwe nali hhenda okukola ebibuuzo bya P7 era muwala wa Ssenga wange ye yamundabira n’amundeetera ku kyalo Nakabaale e Bugiri gye nnali mbeera.

Yasisinkana bazadde bange abaamusaba okubasasula embuzi alyoke antwale kyokka n’emulemerera.

Ssenga yalaba omusajja takomawo, n’amuyita ne bakwatagana era awaka yanzibawo bubbi oluvannyuma lwa ssenga okukizuula nti nali nfunye olubuto mu muvubuka w’oku kyalo omu eyali ampeeredde okutuuka mu P7.

Ebiseera ebyo olubuto lwali lwa myezi esatu wabula baze teyakitegeera.

Bwe natuuka mu ddya, embeera yali entambulira bulungi olwo nga n’olubuto alowooza lulwe naye engeri omumwa gye gutazibira kyama nategeezaako mukwano gwange (Hadijah) nti abaana ababiri be nnina omwana asooka si wa baze.

Nneevuma olunaku lwe nabotorera mukwano gwange ekyama kuba yabitambuza ku kyalo kyonna okukkakkana nga ne baze abitegedde.

Nga December 14, 2017, olwo nga baze amaze okutegeera buli kimu, yankubira essimu nga mukambwe n’antegeeza nti siddayo ewuwe kyokka nze n’abooluganda lwange ne tumwegayirira n’anziriramu wabula n’andagira omwana mmutwalire kitaawe tusobole okutambuza obulungi omukwano gwaffe nange kye nakola.

Wabula ate kennyini yagenda mu kyalo omwana n’amukomyawo ekyayongera okwonoona embeera