Okuloota ng’olya ebiwuka kiwa essuubi

By Musasi wa Bukedde

Betty ow’e Salaama yaloota ng’alya ebiwuka. Kitegeeza nga bw’onootera okukola ekintu ky’omaze ekiseera ng’otidde okukikola.

5waystoprogramyourdreams 350x210

Harriet ow’e Kikindu yaloota nga muganzi we ali mu nnaku nnyingi nga takyalina na ssente. Waloota bulungi kubanga muganzi wo ajja kwongera kubeera bulungi, afune ne ssente ezisinga ne z’alina kati. 

Nabirye ow’e Kaliro yaloota omukazi eyali agabula omuceere n’ennyama ng’agenda abayiira mu ngalo. Omuceere yagulya, ennyama n’agigaana. Kikulabula okufuga obusungu bwo, kubanga waliwo abeetegese okukulemesa by’oyagala okukola. 

Josephine ow’e Kyamuswa yaloota ng’ali mu mazzi omwali emisoto. Kitegeeza ng’emu ku ntegeka z’olina mu birowoozo byo, gy’olowooza nga yeeneekuyamba, nfu. Sooka owummuzeemu ku birowoozo byo. 

DJ. ow’e Masajja yaloota nga bali ku kitanda n’omukazi gwe yeegwanyiza. Oluvannyuma baava ku kitanda ne bagwa mu kinnya ne balemeramu okutuusa abadduukirize lwe baabasikayo. Kitegeeza nga bw’osaana okwesonyiwa omukazi oyo kuba wabisiraani by’otoggya kusobola. 

 

Ismail ow’e Mbarara yaloota nga waliwo abantu abamugoba naye ye ng’adduka bwabuuka. Ekirooto kino kitegeeza ebizibu ebiri mu maka go oba mu kika kyo ebyetaaga okutereeza naye nga mukyabinyomerera. 

Naava ow’e Namasuba yaloota nga laddu egudde n’esigula omuti ne gugwa mu maaso gye yali alaga. Ekirooto kino kitegeeza olugendo olulimu ebizibu lw’onootera okutambula. Singa kisoboka, sooka oyimirize mu ntambula zo.