Lwaki nsiiyibwa mu bukyala?

By Musasi wa Bukedde

Nnina emyaka 15 naye mbeera nsiiyibwa mu bukyala. Nkole ntya?

Ssenga1 350x210

KU myaka 15, oba otandise okufuna enkyukakyuka ez’okuvubuka. Era enkyukakyuka zino n’embeera mu bukyala ekyuka. Ate oluusi n’okutuuyana ennyo kuleeta okusiiyibwa naddala mu mbugo.

Kiba kirungi n’ogezaako okulaba nti oyambala obuwale obutaleeta bbugumu.

Mu bukyala bw’omukyala, yenna wabeerawo embeera nga ssinga embeera eno ekyuka, okusiiyibwa oluusi n’obulwadde obuyitibwa kandida osobola okubufuna.

Abakyala era n’abavubuka bangi batera okufuna kandida ate ng’aleeta okusiiyibwa.

Abantu abamu balowooza nti kandida bulwadde bwa kikaba. Naye ng’ate si bwe kiri.

Kandida abakyala bamufuna kubanga wabeerawo enkyukakyuka mu mubiri ng’okugenda mu nsonga, okuvubuka, okulwala n’ebirala era bino byonna bikyusa embeera mu bukyala.