Ayagala tuddemu omukwano

n’awasa omukyala omulala ne bazaala n’abaana. Naye kati yakomawo gyendi nti ayagala kumpasa era ampangisize ennyumba naye mpulira ntya lwakuba ate mwagala okukamala. Simanyi kya kukola.

 ssenga

Waliwo omusajja twali twagalana n'awasa omukyala omulala ne bazaala n'abaana. Naye kati yakomawo gyendi nti ayagala kumpasa era ampangisize ennyumba naye mpulira ntya lwakuba ate mwagala okukamala. Simanyi kya kukola.

Olina okwebuuza ddala omusajja ono ali siriyaasi nti akwagala oba ayagala owulire bulungi. Oba alina ky'abaza ng'ayagala kukukozesa. Kubanga sooka weebuuze, yali akwagala n'akuleka ekitegeeza nti yasalawo nti omukyala oli y'asinga. Ate era amuzaddemu abaana babiri kyokka takugambye nti amulese wabula ogenda kufuuka nnamba bbiri.

Sigaanyi oyinza okuba nti eky'okubeera nnamba bbiri tokifaako olw'omukwano gw'alina naye oba ddala asazeewo ofuuke nnamba bbiri bw'akupangisiza ennyumba tekimala. Lwaki takyala ewammwe era n'akwanjula kubanga ekyo kiraga nti ddala ayagala ofuuke mukyala we.

Wadde omwagala weetegereze. Olina okumwagala kati kubanga ye yakuleka. Ate jjukira abasajja abamu bw'akwagalako ofuuka mukyala we. Era tayagala kuwulira nti wafuna omusajja omulala.