Lwaki abawala baηηaana oluvannyuma?

By Musasi wa Bukedde

OBA nnina buzibu ki? Lwaki bwe nkwana omuwala asooka nakkiriza ate oluvannyuma n’agaana? Omuwala ono aba andabyemu buzibu ki?

Ssenga1 350x210

OMUWALA waddembe okukkiriza oba okugaana. Abasajja abasinga balowooza nti bw’okwana omuwala oba omukyala alina okukkiriza.

N’ekirala bw’amala okukkiriza tekitegeeza nti tasobola kukyusa ndowooza n’akugaana.

Era naawe ndowooza oyinza okukwana omuwala ng’omwagala naye oluvannyuma n’okyusa ekirowoozo.

Ekibi abantu abasinga era balowooza nti omuwala okukugaana olina okuba ng’olina ekizibu oba ekisiraani.

Nedda buli muntu alina eddembe okukola ky’ayagala. Talina kukola gwe ky’oyagala kyokka. Kati kino kyesonyiwe.

N’ekirala tandika okwebuuza bw’okwana okwana mu bulungi ate bw’omala n’oyagala okutandikira ku kigambo kwegatta.

Bwe kiba bwekityo, abawala n’abakyala bwe balaba ng’okusinga oyagala kwegatta ate nga ye abadde ayagala mukwano asooke akutegeere, ebyokwegatta mubirabe eyo mu maaso, kitegeeza nti ebigendererwa tebikwatagana era alina kuleka.

B’okwana omuwala oba omukyala nga ddala omwagala, tosookera ku kwegatta.

Olwo omukyala oba omuwala oyo oba omufudde nga malaaya.