Eyandesa omulimu ansuddewo

By Musasi wa Bukedde

NZE Mediatrice Kubwimana 28, nzaalibwa Burundi naye nga mbeera Namugongo Zooni II. Mu 2011, nafuna omulimu gw’obwayaaya e Naguru era ne ngukola bulungi. Nga wayise ekiseera, waliwo omusajja eyanneegomba.

Kazi 350x210

Ono yali akolera ku kaduuka akaali okumpi ne we nnali mbeera era nga we nnagulanga ebintu by’okukozesa awaka.

Yantegeeza nga bwe yali anjagala era ng’andabidde ebbanga. Kino kyatwala ebbanga era nga buli lwannyuka ku mirimu gye ng’ajja we nnali nkolera nga tunyumya era wano we twatandikira okwagalana.

Yansaba antwale ewuwe nange ne nzikiriza kuba yali ansuubizza ensi n’eggulu kale nga ndaba n’omulimu gwe nnali nkola tegukyalina makulu.

Twagenda ewuwe ne tutandika obufumbo bwaffe ebweyagaza mwe twazaalira abaana bana omwali n’abalongo, Kato ne Wasswa.

Olwafuna olubuto lw’abalongo, awo we yatandikira okwecanga n’atandika n’okunywa omwenge ne batuuka n’okumugoba ku dduuka we yali akolera.

Ate ng’oluba okudda awaka atuukira mu kuyomba. Mu kweyombya kuno, we yah− hambira nti n’olubuto si lulwe.

Olwokuba yali takyalina mulimu, embeera yatukyukira nga tewali wadde kye tulya nga n’ennyumba takyasobola kugisasula.

Era wano we yayingirira okwokya ebyuma (welding). Kyokka era olw’okunywa omwenge, baatuuka ekiseera nga bamuwa emirimu naye nga natagikola era ekyavaamu nga tebakyagimuwa.

Kati nnannyini nnyumba atubanja emyezi ena (280,000/-) era yatugobyemu.

Ssaalongo yatambula n’agenda kyokka simanyi gye yalaga kati tusula mu kiyumba ekitannaggwa.

Abaana bange bato, sirina gwe mbalekera kugenda kunoonya mirimu ate nga nkyali nnakawere. Nnali nafuna omulimu gw’okwoza engoye z’abantu ku kyalo naye sikyasobola.

Ekinnuma nti, okuva lwe nafuna olubuto, omusajja tandabirira ate nga n’omwana omukulu awezezza emyaka esatu naye tasoma nga n’ekyokulya tuyigga kiyigge.

Nsaba omuntu yenna asobola okunnyamba annyambe kuba nsobeddwa eka ne mu kibira. Ndi ku ssimu, 0773034076.