Ow’ebbali ancamula okusinga ow’awaka

By Musasi wa Bukedde

Ssenga nnina muganzi wange. Naye nnyumirwa nnyo nga ndi naye okusinga maama w’abaana. Ssenga nkoze ntya saagala kwonoona bufumbo bwange kubanga ono sirina gye mutwala mwendako bwezi.

Ssenga1 350x210

Ate kino abasajja era n’abakyala bakikola nnyo. Naye bambi oyo gwe babaligako aba takimanyi.

Anti ebigambo n’ebikolwa biraga nti yaliwo. Era bw’olaba omusajja nga tanyumya ku makaage ng’omanya nti oyo ayagala nnyo obufumbo bwe era tayagala mukyala kumanya nti alina omukyala omulala oba ayenda.

Kati mwana wange omukyala maama w’abaana omumanyidde kale teri kipya. Ono ate gw’obaligako nga bw’ogambye mupya ate jjukira nti naye alina okulaba ng’akusanyusa kubanga naye oluusi ayagala kukuwamba akweddize.

Buli mufumbo yandibadde agezaako okulaba ng’okwegatta kubeera kupya, buli kiseera ne mwewala okwetamwa.

Abasajja abasinga kino tebakifaako ate ng’abakyala batya okugamba abaami nti ebyokwegatta tebigenda bulungi. Ekintu bw’okikola buli lunaku naye nga tokyusaamu okikoowa.