Eyanzaalira abaana yannema lwa mputtu

By Musasi wa Bukedde

EBINTU by’abakazi bizibu ddala era buli omu okusinziira ku ngeri gy’abalabamu gy’asaana okubatwalamu. Nze mbalabira ddala nga bazibu naddala ng’omusajja tolina ssente.

Save1 350x210

Nze Joseph Bbale nga mbeera Ndejje. Nafuna omukyala gwe nnali neegombye obulungi era ng’alabika bulungi. Kino kye kyampaliriza n’okumuwasa afuukire ddala mukyala wange.

Omukyala ono namuwasa era ne tuweza emyaka mukaaga nga tubeera ffembi ne tuzaala n’abaana babiri. Naye ekyasinga okuneewuunyisa ku mukyala ono y’engeri gye yatandika okukyukamu mu mbeera ne mbeera nga sikyamutegeera.

Omukyala ono yatandika okwagala obuyinza bwonna abwezze amaka nga y’ayagala alagirenga ng’alinga ye musajja mu maka era nga buli kye mmugamba nga ne bwe kibeera kirungi ng’akyogerera era ng’akibuusa amaaso.

Ovanga ku mukyala ng’akimanyi nti muli bafumbo era nga ye ggwe mwami we naye ng’alinga agamba nti y’alina okukusalirawo.

Okusinziira ku mbeera ze nnamulabamu, nnali siyinza kukkiriza kweyongerayo mu maaso naye, kwe kutandika mpolampola okuyiiya obulamu obupya obutaliimu kusika muguwa.

Okuva lwe nnasalawo okukola emirimu gyange egya bodaboda, natandika okufuna emirembe mu mutima era kati nakkakkana noonye ssente zange olwo nange noonyeyo omutuufu anaasobola okuguma mu bufumbo bwaffe.

Kye nsuubira nti kijja kubeera kyangu kubanga kati nninawo ku ssente.