Ssenga ngende ebweru?

By Musasi wa Bukedde

Ssenga njagala kugenda kukola bweru naye omwami wange mwenzi nnyo ate talina ky’annyamba. Nze nkola buli kimu awaka. Nze ndabirira abaana.

Ssenga1 350x210

Mu kiseera kino bali mu kisulo era bwe bawummula bagenda wa maama era gye nsuubiria okubaleka. Naye omwami ono yafunye omukyala mulala.

Abalala bangamba nti sigenda kubanga agenda kufuna abakyala abalala ate abamu bahhamba nti ngende nkole kubanga hhenda kulera mwana wa muganda wange okumala omwaka mulamba. Muganda wange agenda kusomesa abaana era ssente z’emyaka ebiri yamaze ozimpa ate yangulidde ne puloti eri mu mannya gange.

Agenda kuzimba okutuuka ku kusereka era yatandise. Ssenga ngende. Okusookera ddala oba oli kuno oba toliiwo omusajja ono tekimugaana kufuna mukyala mulala. Omwenzi asigala nga mwezi era teri kimugaana kukulekawo n’ayenda.

Ekirala mwana wange mugandawo ng’akoze ekintu ekitali kya bulijjo, kubanga mugandawo okugula poloti n’azimba ennyumba ate n’abaana n’abawa fiizi aba akoze bulungi kubanga abantu bangi bakozesa abantu naye nga tebabasasula.

Kati eby’okubeera kuno ate ng’endagaano ne mugandawo agitandise nze ndaba ng’ onooba okoze bubi.

Kyakoze kimala bulungi era kansuubire nti naawe onoosobola okudda nga wayiseewo omwaka gumu osobole okubeera n’abaana bo.

Naaye okusigala wano ng’okuuma obufumbo ate nga tosobola kugaana mwami wo kwenda ate nga n’omwami talabirira baana mwana wange ndaba nga si kya magezi.

Kubanga ndaba nga tolina bufumbo kubanga omusajja atalabirira baana ate nga n’obwenzi mwenzi kizibu okumugumiikiriza.