‘Mukazi wange namuggya mu musomo gwa Ssenga’

By Musasi wa Bukedde

Jonathan Yiga ow’e Kaliisizo y’omu ku beenyumiriza mu misomo gya ssenga wa Bukedde egizze gibeerawo bwe yafunamu omukyala gwe yaakamala naye emyaka ebiri era annyonyola bwati;

Nsubuga002web 350x210

Jonathan Yiga ow’e Kaliisizo y’omu ku beenyumiriza mu misomo gya ssenga wa Bukedde  egizze gibeerawo bwe yafunamu omukyala gwe yaakamala naye emyaka ebiri era annyonyola bwati;
 
Nnali nnina ensonyi okukwana nga ntya abawala okuhhaana era ne kinemesanga okubatuukirira.  
 
Naye bwe nalaba nga balanga omusomo gw’abakulu ogwa Bukedde ne nsalawo okugwetabamu.
 
Bwe twali tusoma, baatuwa omukisa okunoonyezaamu ababeezi  ne ndaba nga nfunye omukisa munene nnyo okwanjuliramu ebisaanyizo byange kubanga waaliwo abakazi bangi nnyo ate nga bazze bokka.
 
Nange saaganya mukisa kumpitako, bwe bampa akazindaalo ne nsomeramu ennamba yange ey’essimu.
 
Kyokka omusomo gwali tegunaggwa ne batandika okunkubira amasimu nga bulyomu angamba aneepikira.
 
Nawulira essanyu nga linzita era nagenda njogera nabo nga nsengejja okumalako wiiki yonna naye ng’oluusi tubikomya ku ssimu kubanga baali tebasobola kuva Kampala kujja Kaliisizo. 
 
Naye mba ndi awo, ne nfunamu ava mu kitundu kyange eyanyanguyiza embeera. 
Twasisinkana ne tusiimagana era kati tuli bafumbo nga tubumazeemu emyaka ebiri. 
 
Embeera mu kiseera kino etambula bulungi kubanga byonna bye nsoma mu misomo gino ngezaako nnyo okubiteeka mu nkola era y’ensonga lwaki nasazeewo ne mukyala wange obutamuleka mabega naye asobole okugabana ku mugaati guno. 
 
Omukyala ayogedde
 
Ye Sarah Namwanje agamba nti musanyufu nnyo okusisinkana omwami we kuba mu bonna abaamukubiranga ye gwe yasiima.
 
Ate nga ne byakola abitegeera kubanga obubaka bwonna bwagya mu misomo gino abutwala nga bukulu nnyo.
 
Aba Bukedde mwebale nnyo era tubasaba emisomo gino mugireeteko e Masaka n’abalala bafune omukisa okuwulira ku bigambo ebiruhhamya abaagalana ate bafune n’ababeezi ababangule nga bayiseeko ewa ssenga wa Bukedde.