Buli muwala gwe ndaba mmwegomba

By Musasi wa Bukedde

NNINA emyaka 23. Ssenga neenyigirako mu muze gw’okwemazisa nga nkyali muto naye kati bwe neegatta n’omuwala omulundi ogusooka siddamu kufuna bwagazi bwa kwegatta naye omulundi omulala. Ekisinga okunneeraliikiriza kwe kuba nti oluusi mbeera njagala kwegatta na buli mukyala gwe ndaba. Nnina kizibu ki ssenga?

Nyumya 350x210

MWANA wange, okusookera ddala tolina kizibu kyonna. Ku myaka gy’olina obeera n’obwagazi bungi era bw’olaba omuwala nga mulungi oba oyagala kwegatta naye era y’embeera eyo gy’ogamba.

Naye okwegatta n’omuntu tekitegeeza nti omwagala. Obeera n’obwagazi naye nga tolina mukwano gy’ali.

Embeera eno ebeera nnyo mu bavubuka era nga ya butonde. Naye bw’ogenda okula, sigaanye weegomba naye ate oyinza obutayagala kwegatta na muntu oyo newankubadde mu birowoozo abeeramu. Kati olina okufuga obwongo.

Bw’olaba omuwala n’omwegomba tekitegeeza nti olina kwegatta naye kuba ggwe ky’oba oyagala kwegatta bwe kiggwa tosobola kubeera na bwagazi nate.

Nkwegayiridde endowooza y’okwagala okwegatta na buli mukyala gw’olaba gyesonyiwe kubanga esobola okukutuusa mu buzibu.

Naye okwemazisa si kwe kwaleeta embeera eno wabula butonde ssaako n’obutafuga bwongo bwo.