Nkole ntya okufuna omukyala?

By Musasi wa Bukedde

SSENGA weebale kutusomesa. Ekizibu kyange kya butaba na mukyala ate nga nkuze. Ssenga abakyala bonna be nfuna tebalina mpisa, si bayonjo ate nga baagala nnyo ssente. Kati nkoze ntya okufuna omukyala? Nnina emyaka 19.

Nyumya 350x210

NZE ndaba okyali muvubuka muto. Oyogera ku bakyala b’ofuna, ofuna bavubuka banno oba bakyala bakulu?

Bw’oba ofuna bakyala bakulu olina okubeesonyiwa kuba bakulyako ssente zo oluvannyuma bakuleke kubanga balaba ng’okyali muto.

Omuvubuka yandiwasizza waakiri ku myaka nga 25 kubanga ku myaka egyo abeera akuze era ng’asobola okubeera n’obuvunaanyizibwa mu maka.

Naye kati ku myaka gy’olina, obuvunaanyizibwa tobumanyi bulungi. Okimanyi nti ssinga tokola wandibadde osoma?.

Ng’ogenda mu yunivasite oba musomero erya tekiniko. Sigaanyi omanyi ky’oyagala mu mukyala naye emyaka mito.

Ate jjukira olina kufuna muvubuka nga naye alina emyaka nga 18 oba ng’asingawo obuto.

Kati oyo naye abeera akyali muto mu birowoozo, mu nkula era n’okuzaala abeera muto.

Obufumbo si bwangu naye bw’oba obuyize bukwanguyira.

N’ekirala nze ndowooza nti olina bwagazi kati n’olowooza nti ddala olina okwagala.

Sooka olindeko okule kuba okyali muto.