Baze ssente z’okulabirira abaana azimalira mu bakazi

By Musasi wa Bukedde

Yamperereza n’atuuka n’okunsuuzaawo omulimu n’antwala mmufumbire naye nga tatuuse mu bazadde bange. Wabula yansuubiza nti tujja kugendayo oluvannyuma.

Senga 350x210

Olw’omukwano omungi gwe nalina, nakkiriza ebigambo bye nga simusuubira kunjiwa.

Naye ennaku gye ndabidde ewuwe nejjusa n’olunaku lwe twasisinkana! Omusajja alina obuyumba bw’abapangisa naye apangisaako bakazi bokka abatali bafumbo kuba ava muzigo ku muzigo ng’abaganza ekintu ekibalemesa okusasula ssente z’omwezi okulabirira abaana.

Tampa buyambi ate abawala b’aganza babeera banvuma buli kiseera n’abamu okugezaako okunkuba kyokka nga baze tanyega.

Buli lwe mmusaba obuyambi bw’abaana ng’ankuba okubula okunzita. Awaka takyasulawo wadde okutuweereza ekyokulya.

Embeera enkaluubiridde ne bwe ngezaako okumuloopa ku poliisi tebalina kye bamukola.

Baagaana okumukwata wadde okumukubira essimu okumulabula ku ky’obutatuukiriza buvunaanyizibwa bwe.

Nsaba Bannayuganda n’ebibiina ebirwanirira eddembe ly’abaana binnyambe omusajja ono bamuteekeko amaanyi alabirire abaana be kubanga omwana omukulu atuuse okusoma naye yagaana n’okusasula fiizi.

Nsaba kuyambibwa omusajja ono bamuwalirize alabirire famire ye.