Obwesige bwa ‘ddaali’ bumpa amaanyi

By Musasi wa Bukedde

LIBEERA ssanyu jjereere ng’omuntu alabye ku mwagalwa we naddala ng’abadde amaze ebbanga nga tamulaba.

Pita 350x210

Embeera bweti eyamba n’okuzza omukwano gwemmwe obuggya buli lwe musisinkana. Nze Stephen Ndora, mbeera Kampala naye nga nzaalibwa Kyenjojo.

Nafuna mwana muwala gwe nnasiima era ne mmwagala okuzaama okukkakkana ng’afuuse mukyala wange antokoseza ettooke nga nzizeeyo okumulabako e Kyenjojo mu luwummula.

Ono twasisinkana mu 2006 era akaseera kano ke tweyambisa buli omu okumanya munne n’ekigendererwa ky’obutatomera.

Kino kyatuyamba buli omu okumanya munne n’okumanya ebinyiiza oba ebisanyusa munne.

Ekyasinga okunsanyusa n’okunywerera ku mukyala wange, bye bisuubizo bye twakola naye omwali okwagalana nga buli omu mwerufu eri munne era kino mukyala wange simuwaayiriza afubye okukikuuma.

Ebbanga bwe lyagenda ligenderera enkolagana yaffe yaggumirira ddala era nga kati twasobola n’okuzaala abaana baffe bana era nga nabo bali mu kyalo e Kyenjojo gye nnabaleka ne nnyaabwe nze ne nzijja eno e Kampala okuyiiya ekikumi.

Newankubadde nga ndi eno mu kibuga ntetenkanya, nga ye namuleka mu kyalo, ndi mumativu nti mukyala wange nja kumusanga mu mbeera nnungi nga bwe nnamuleka kubanga mmwesiga.

Ekiseera bwe kyetoloola, omutima gumanyi okunnumira abantu bange era oluusi mpuubayo olubu lw’ekigere ne mbalabako n’akatono konna ke mbeera nsobodde ekyongedde okunyweza enkolagana yaffe.

Ate ne mukyala wange essanyu ly’andaga n’omukwano gwe tulina, siyinza kumwabulira era buli olukya nnyongera kusaba Katonda ankuumire mu ssanyu wamu ne famire yange.