Owoolubuto akoma ddi okwegatta?

By Musasi wa Bukedde

OMUKYALA owoolubuto yeegatta okutuusa ku myezi emeka? Nze ndi lubuto lwa myezi musanvu naye twegatta n’omwami wange nga bulijjo era sirina kye mpulira era njagala nnyo okwegatta. Ssenga olowooza nnina buzibu ki?

Spirit 350x210

OMUKYALA yenna nga talina kyawulira oba nga talina kizibu kyonna wa ddembe okwegatta n’omwami okutuusa mu kuzaala.

Okwegatta abasawo bagamba nti kuyamba okumenya oba amagumba okugonda n’ozaala bulungi.

Naye bw’obeera n’embeera yonna abasawo naddala ng’onywa eddagala, bakubuulira nti si kirungi kwegatta. Oluusi waliyo abakyala nga bw’afuna olubuto tayagala kwegatta na bba.

Abakyala abafuna embeera eno, abaami baabwe batuuka n’okulowooza nti osanga baba baafuna abasajja abalala naye ate nga mbeera ya lubuto.

Waliyo n’abalala bw’afuna olubuto ate obwagazi bubeera bungi. Omukyala yenna bw’afuna olubuto, obusimu bw’omubiri bukyuka mu mbeera ez’enjawulo.

Ekirala embuto tezifaanagana, buli lubuto lujja mu mbeera ya njawulo. Kati bw’oba oyagala okwegatta ne munno okutuusa lw’olizaala, tekirina buzibu.