Engeri olulimi lw'omukazi gye lukosaamu omusajja mu nsonga z'omukwano

By Musasi wa Bukedde

Engeri olulimi lw'omukazi gye lukosaamu omusajja mu nsonga z'omukwano

Senga1 350x210

OLULIMI lw’omukazi gye lwakoma okuba n’ensonyi mu nsonga z’omukwano, abasajja gye bakoma okulutya nga lubadde lubikkuse. Kino kye kireetera omukazi obutavaamu na kigambo nti, “... kale nzikirizza laavu gy’onsaba...!” ng’omusajja abadde amukwana. Era n’amala akyogera, ate oyinza okundabira omusajja bwe yeebwalabwala.

Ye ne wabaawo embeera omukazi gye yeesitula ne yeegambira omusajja nti, “... musajja ggwe nkufa...!” era njagala tubeeko we tulaga, oyinza okundabira omusajja bw’atuula obufoofofo.

Atandika okwekengera omukazi oyo era bw’ataba musajja awera, n’enkasi tesituka. Ne bwe kiba ku ssimu zino ezajja; omukazi n’akuteekamu yuniti n’akugamba nti akwagala oba n’akugamba nti leero nkwetegekedde, ne bw’aba mukyala wo ow’awaka owulira ng’omutwe gukwetooloola! Abakugu bazudde nti embeera eno bw’ebaawo, abasajja ate asookera kugirowooleza mu kwekengera.

Bw’aba omusajja omufumbo mukyala we n’amukubira essimu n’amugamba nti , “ddadi leero nkwetegekedde!” ate omusajja asookera mu kulowooza nti osanga waliwo ebyasobye!

Bw’aba omukazi ow’ebbali nga tomukwanangako n’akwekwanira, omusajja bw’aba alina kyalina asookera mu kulowooza nti omukazi ayagala kumubba. Oba oluusi okulowooza nti omukazi alina abaamutumye amutuuseeko obutemu. Kale abakugu kye baavudde baanukula embeera eno ne bagamba nti abakazi mu butonde kye bava bakoma ku kwekoza obwekoza okusikiriza abasajja.

Ne bw’atuuka mu buliri, tayasamya kamwa n’agamba omusajja nti owange tandika omuzannyo.

Ate bw’aba tannagonda kutuuka kujja mu kitanda, afuba kwekoza, kwemoola, kwekuba buwoowo n’okwetuuza oba okweyisa awali omusajja gwe yeegombye okutuusa omusajja lw’abaako ky’akola. Noolwekyo kiba kirungi naawe omusajja n’oyiga okusomera ebbaluwa mu bbaasa