Eyanfunyisa olubuto mu kkanisa yanzirukako

NNALI mmanyi nti abantu bye bagamba nti abasajja si beesimbu byabubalimba okutuusa bwe kyantuukako. Nze Juliet Mbwali Biyinzika 19, mbeera Bwaise.

 Juliet Mbwali ne bbebi we

Enjogera egamba nti tumala kwekoona ne tubuuka entuukirako. Buli lwe nsiriikirira n'amaziga gampitamu olw'embeera gyendimu kati.

Nali mbeera ne muganda wange omulenzi ng'apangisa Makerere. Ekiseera kyatuuka ssente z'obupangisa ne zimuggwaako nnannyini nju n'atugoba.

Ssente ezituzzaayo mu kyalo nazo twali tetuzirina ne tuslawo okuddukira ku kkanisa emu ey'Abalokole e Makerere Kavule kuba twali tukimanyiiko nti waliwo abasulawo.

Omu ku bavubuka abaali basula ku kkanisa yangulirako ebyokulya ne ndowooza nti waakisa.

Nga wayise emyezi esatu, yahhamba nti yafunye ekirooto nga Mukama amugamba nti alina kuwasa nze.

Olwokuba nakula mmanyi nti Abalokole boogera mazima nakkiriza. Ekiro ekimu yampita kyokka nagenda okulaba ng'apanga obutebe emabega w'ekkanisa nga tewali asobola kutulaba n'ahhamba nti, sitya buli ky'akola kiri mu mwoyo omutukuvu.

Yankozesa enfunda eziwera era waayita emyezi ebiri ne nfuna olubuto.

Olwamugamba yandanga nti takirinaako buzibu n'ansuubiza okumpangisiza enju. Nakitegeera luvannyuma nti yali annimba era n'adduka mu kkanisa.

Amagezi ganneesiba nga n'abantu abamu bampa amagezi okuggyamu olubuto naye ne hhaana. Embeera teyali nnyangu kubanga n'ekyokulya okukifuna tekyali kyangu.

Katonda yannyamba ne nzaala omwana mulenzi kati alina omwaka gumu n'emyezi ebiri.

Muganda wange yaddamu n'afuna ssente ezipangisa e Bwaise n'anzikiriza okuddamu okubeera naye n'omwana.

Sirina waaluganda lwa musajja yenna gwe mmanyi era n'obuyambi sirina.

Nsaba abawala abakyali mu ssomero mugume wadde mulinamu okunyigirizibwa. Ebirungi biri mu kusoma temulimbibwa.