Nneebaza Mukama okumpa omutuufu

By Musasi wa Bukedde

MU buvubuka bwange, nalina omutima omunafu ku nsonga z’omukwano kubanga nali ntya abasajja olw’ebyo bye nnawuliranga abakyala bye baboogerera.

Dece 350x210

Kino kyandowoozesa nti abasajja bonna kye kimu ekintu ekyayongera okuntiisa era ne mmaliriza obutamala gawa musajja gwe seekakasa mutima gwange.

Ebiseera we byangenderera, nasalawo okuguma omutima ne nzigala amatu okuva eri mikwano gyange kuba ffenna tetufaanagana ate nga waaliwo ne be nnalabanga nga basanyufu mu mukwano.

Olwo ne ntandika okusaba Katonda ampe omusajja anampa essanyu ate nga twetegeera. Era bwatyo Katonda yaddamu essaala yange ne nfuna omuntu gwe nnalootanga.

Nze Asiya Nagawa 38, mbeera Bunnamwaya era maze emyaka 12 mu bufumbo n’abaana bataano.

Mu lugendo lwange olw’okufuna omwagalwa, nasaba Katonda okunkulemberamu era nali mwegendereza nnyo bwe nasisikana omwagalwa wange nga tuli ku ttendekero erimu.

Saasooka kumwemalirayo newakubadde nga yanjogereza okumala akabanga omwali n’okunnemerako okutuusa lwe nakkiriza.

Nneebaza Mukama kubanga essaala zange yaziwulira n’ampa omusajja omutuufu gwe njagala ate nga mwenyumirizaamu kubanga yaleeta essanyu mu bulamu bwange.

Ono yasangulawo ebigambo bakyala bannange bye baali bang'amba ebyandowoozesanga nti buli musajja mubi.

Ekisinga obukulu y’engeri omusajja wange gy’ampisaamu n’okundabirira obulungi ate ng’ampa ekitiibwa nga mukyala we ate mukwano gwe.

Anfaako, ampa emirembe ate nga mwetoowaze. Omukwano gwaffe tuguzimbidde ku kutya Katonda, obwesigwa n’okukola ennyo.

Bwe wabaawo obutakkaanya tubugonjoola mu kukkaanya. Omwami wange nneeyama okumwagala, okumulabirira n’obutamwabulira era omukwano gwaffe gulifa bukadde.