Eddiini yannemesa ekyana

By Musasi wa Bukedde

ENSONGA z’eby’omukwano tezimbeeredde nnyangu okuviira ddala nga naakatandika eby’okwagala.

Funa 350x210

Nsanze okusoomoozebwa nti omukyala eyali ow’ebirooto byange gwe nafiirako era gwe nali njagala okuwasa ate saasobola kubeera naye olw’ensonga y’eddiini zaffe okuba nga tezikwatagana.

Nze Arthur Kijjambu 26, mbeera Mukono. Mu 2017 bwe nali nkyabeera e Ntinda, nnayagala omuwala eyali omunaddiini ennyo era nga yeeyagalira mu ddiini ye ey’Obusiraamu ate nga nze ndi Mukatuliki.

Twayagalanira ebbanga eriwera ne ntuuka n’okwagala okukyuka anti njagala nkyale ewaabwe abakadde bamannye kubanga twali tukkiriziganyizza okutandika obufumbo bwaffe.

Bwe natuuka ewaabwe w’omuwala, banyaniriza bulungi ne ndowooza nti buli kimu kyali kiwedde okuggyako kitaawe  eyanyaniriza nga bwankemba nga ssimanyi nsonga kw’eva.

Bwe twatuuka okwogerezeganya n’abazadde, taata w’omuwala yakantema nga bwe sisobola kuwasa muwala we okugyako nga nsiramuse kye nnalabamu obuzibu okukola kubanga ne bazadde bange baali 

tebasobola kunzikiriza. Oluvannyuma, omuwala yaddamu okuhhamba nga kitaawe bw’atayagala nsonga ya kuba nti ndi Mukatuliki newankubadde ye yali yeewaddeyo anjagale.

Yali muwala alina empisa, atafaayo ku nsonga ya ssente ng’abawala abalala bwe bali ennaku zino. Nabiyitiramu bazadde bange ne baganda bange ne batabuka ne bah− haana okuddamu okumuwuliza naye 

olw’omukwano omungi gwe twalina, twasigala tulabagana mu bubba naye nga tukimanyi nti tukola nsobi era ng’omukwano gwaffe tegulina gye gulaga.

Ekiseera kyatuuka taata w’omuwala n’amuteeka ku nninga ate nga naye tayagala kumunyiiza kwe kusalawo okunneesonyiwa nange ne mwerekereza  mu bulumi obungi kubanga twali twagalana.

Twamaliriza twawukanidde ddala kubanga tewali yali ayinza kukyusa ddiini ye kudda mu ya mulala.