Nfunye ntya omuwala atalina siriimu?

By Musasi wa Bukedde

NNINA emyaka 25 naye sinnatandika kwegatta kubanga ntya siriimu ng’ate abawala abasinga tebaagala kugenda ku musaayi ate nga nange saagala kukozesa kondomu kubanga bagamba nti tonyumirwa. Kati nkoze ntya okufuna omuwala nga talina siriimu ate ng’alina empisa.

Hhh 350x210

OKUSOOKERA ddala tosobola kumanya oba omuntu alina siriimu oba tamulina okugyako ng’omukebezza omusaayi. Ekirala, omuntu yenna atayagala kufuna siriimu ate nga teyeekebezza aba alina okukozesa kondomu.

Ky’ogamba nti kondomu tenyumisa ekyo kisinziira ku muntu kennyinni naye ng’okusinga ky’oteeka mu bwongo oba mu birowoozo era ky’ofuna.

Oba toyagala kufuna siriimu olina okufuna omuwala n’omukebeza, ate tekitegeeza nti bw’omukebeza nga talina siriimu tasobola kumufuna.

Omuntu atalina siriimu asobola okumufuna mu kwegatta tomanya asobola n’okufuna akabenje n’abantu abalala nga balina akawuka omusaayi ne gumuyingiramu era n’afuna siriimu.

Eky’okufuna omuwala ow’empisa olina kugezaako n’omunoonya ate n’osooka omwetegereza oba ddala azirina.

Weetegereze amaka g’avaamu, empisa ze okumala ekiseera. Ate era olina okumanya nti abantu bakyuka eyalina empisa ayinza okukyuka nga takyazirina.

Kati tosobola kufuna bufumbo nga tofunye mukyala okutya olina okukuteeka ku bbali naye era olina okwegendereza.