Ku myaka 50 siyosa kweyoteza buli mwezi

By FORTUNATE NAGAWA

DOROTHY Kawuma, 50 abeera Kasangati. Mukyala mufumbo, bba ye Charles Mutumba Kawuma. Obufumbo babumazeemu emyaka 30.

Faayo1 350x210

DOROTHY Kawuma, 50 abeera Kasangati. Mukyala mufumbo, bba ye Charles Mutumba Kawuma. Obufumbo babumazeemu emyaka 30.

Ye nnannyini saluuni ya Muky. Kawuma Ladies Centre mu Kampala. Ayooyoota abakyala wamu n’okwambaza abagole.

Kuno agattako okulima n’okulunda. Mukyala muzadde ng’alina abaana 12. Wabula emirimu tegimugaana kweyooyoota era bw’omulaba oyinza obutamuwa myaka gy’alina.

Okola otya okukuuma endabika yo?

Ekisooka, okwerabirira nkitwala nga kintu kikulu kubanga n’omulimu gwe nkola omuntu okusobola okukukkiririzaamu naawe kennyini olina okubeera ng’olabika bulungi. Nfaayo ku mmere gye ndya, ate nnyiikira okulya ebibala nga ffene, ebikajjo n’ebirala.

Ekirala nfuna otulo otummala era buli lunaku essaawa 3:00 ez’ekiro zinsanga mu buliri, olwo ne nzuukuka ku ssaawa 11:30 ku makya.

Bukodyo ki bw’okozesa obukuumye saluuni yo?

Okukuuma omutindo kintu kikulu nnyo. Ennyaniriza ya bakasitoma bange ebaleetera okuwulira nga ddala bali mu kifo ekituufu. Ate sirina kintu kye seenyigiramu wadde nnina abakozi.

 ano ngali ne muwala we Wano ng’ali ne muwala we.

 

Kusoomoozebwa ki kw’osinze okusanga mu mulimu guno?

Saluuni si kintu kyangu ng’abantu bwe balowooza. Okusoomoozebwa kwe nsinze okusanga kwe kusomesa omwana gw’olinamu essuubi ly’okukukolera ate n’agenda. Kino si kibi kubanga naye aba anoonya ssente naye oba olina ate kukwata mulala.

Biki by’okolera omwami wo ebikuumye obufumbo bwammwe okumala emyaka 30?

Ekisooka buli omu awa munne emirembe era ke kanyiriro kano. Ekirala omukwano gwaffe guyimiridde nnyo ku kwagalana, okwewa ekitiibwa n’okusonyiwagana.

Emirimu gyo n’amaka obikwataganya otya?

Obudde kintu kikulu nnyo mu bulamu bwange era nfuba okulaba nga buli kye nkola nkikola mu budde. Nzuukuka ku ssaawa 11:30 ne ntegekera omwami wange ekyenkya, ne nnongoosa mu bisolo byange bye nkuumira awaka. Ssaawa 4:00 zinsanga ku saluuni. Nnina ente naye waliyo abakozi abazirabirira nze ηηendayo ku Ssande.

Ofuna ddi obudde obubeerako n’abaana?

Abaana abasinga bakulu era abamu nkola nabo ku saluuni.

 galaga ezimu ku nte zalunda Ng’alaga ezimu ku nte z’alunda.

 

Kintu ki ekisinga okukuwa emirembe ?

Abantu ba famire yange bwe babeera nga balamu bulungi ate nga bamanyi Katonda okuva ku muto okutuuka ku mukulu kimpa essanyu lingi. Ekirala buli lwe ndaba nga saluuni yange buli lunaku waliwo omuntu omupya ayitiddewo kinsanyusa.

Misono ki gy’osinga okwambala?

Njagala okwambala ebiteeteeyi wabula n’ebitengi binkolera. Wabula ku mikolo nnyambala gomesi.

Kintu ki ky’otoyinza kumalako mwezi nga tokikoze?

Simalaako mwezi nga sisiibye. Ekirala buli mwezi nteekwa okweyoteza okusobola okukuuma olususu lwange nga lulabika bulungi.

Olususu olusiiga ki okusigala nga lwaka?

Olususu lwange luwulira mangu ebizigo era nneewala okulusiiga eby’amaanyi kuba biyinza okulwokya. Ekimu ku bye nnyiikira okukola kwe kunywa amazzi.

 gategeka ebiwata byaliisa ente ze Ng’ategeka ebiwata by’aliisa ente ze.

 

Osinga kuwoomerwa mmere ki?

Mpoomerwa amatooke, enkoko n’ekinyeebwa lwakuba omusawo yaηηaana okubirya.

Biruubirirwa ki by’olina mu bulamu ng’omukyala?

Ekiruubirirwa kyange kukola nnyo nsobole okuleka erinnya.

Muntu ki gw’otoyinza kwerabira mu bulamu bwo?

Maama omukadde Esther Mubazi.

Kirowoozo ki ky’olina eri bakyala banno?

Beekwase Katonda kubanga tewali mbeera gy’atasobola. Ekirala buli mukyala yandifunye ky’akola okusobola okukwataganyizako omwami we bazimbe amaka