Empale ya jjiini eriko zzipu gitobeke bw’oti

By Musasi wa Bukedde

EMPALE empanvu eziyitibwa ‘panch pant’ ng’omuntu ayinza okuziyita empale eza zzipu ze ziwambye Kampala.

Tya 350x210

Bya BETTY NAMUKWAYA

EMPALE empanvu eziyitibwa ‘panch pant’ ng’omuntu ayinza okuziyita empale eza zzipu ze ziwambye Kampala.

Kim Kulungi atunda engoye z’abakyala mu Kampala agamba nti empale zino okusinga zambalibwa bavubuka naye nga n’omukyala omukulu osobola okugyambala n’alabika bulungi.

Agattako nti empale eno eyamba nnyo abakyala okufuna ffi ga ne balabika bulungi.

Empale zino zibadde zaakajja naye abawala n’abakyala abategeera eby’okwambala bazettanidde kubanga za njawulo, buli lw’ogyambala onyuma ate ng’osobola okugyambalira mu bifo eby’enjawulo.

Empale zino zijjidde mu langi ez’enjawulo omuli; bbulu, emmyuufu, enzirugavu n’endala. Jjiini era tezinaanuuka nga kino kitegeeza nti olina okugula ekutuuka obulungi lw’ojja okunyuma obulungi. Shamim Nats ow’omu Kampala y’omu ku bawala abettanidde empale zino.

Agamba nti asobola okutobeka empale eno ku mukolo egy’enjawulo okuli okugenda ku kabaga, ku mulimu ng’agenda okukola ng’akyusizaako engatto ez’enjawulo n’ensawo.

Empale zino zitundibwa okusinziira ku sayizi. Omutono ayinza okugula ey’e 30,000/- omunene ku 45,000/- .