Obukulu bw’okufuna pulaani y’enju ng’ozimba

By Kizito Musoke

Obukulu bw’okufuna pulaani y’enju ng’ozimba

Go1 350x210

GGWE azimba okimanyi nti ennyumba musango muloope okuzimba mu kitundu kyonna nga tolina pulaani yakakasibwa mu buyinza? Ssinga okwatibwa n’omukono ogwekyuma wandyesanga ng’ennyumba yonna emenyeddwa, okukuwambako ebizimbisibwa ne bakulagira n’okuwa engassi.

Etteeka lya ‘‘Physical Planning Act, 2010’’ likiraga nti tewali muntu akkirizibwa kuzimba nnyumba mu Uganda nga tomaze kufuna pulaani ekakasiddwa.

Okusooka etteeka lya Public Health Act, 1969 lyali likola ku mayumba agazimbibwa mu bibuga kyokka kati byakyukamu litwaliramu n’ab’omu byalo.

Buli kika kya nnyumba ezimbibwa erina okubeera ne pulaani eyayisibwa era n’ekakasibwa abakugu ba disitulikiti abakola ku nsonga eno.

BY’OFIIRWA NGA TOLINA PULAANI?

Robert Henry Kiggundu, amyuka pulezidenti w’ekibiina ekigatta abakubi ba pulaani mu ggwanga ekya ‘‘Uganda Society of Architects’’ yagambye nti okuva edda ng’abantu tebazimba nnyumba nga tebamaze kukuba pulaani.

Eno y’ensonga lwaki baazimbanga busiisira obwetooloovu kuba tezigwa mangu. Emu ku nsonga lwaki abakubi ba pulaani basomera emyaka etaano, babeera bafunye obukugu mu bintu omuli: entambula y’amazzi, entambula y’omusana, ettaka ng’era ebintu tebakoppa bikoppe.

Ennyumba yo n’emala efuna obuzibu n’etta abantu, olina okunnyonnyola eyakakasa pulaaniy’ennyumba yo. Ne bwe kibeera kizimbe kya ssomero, omulambuzi w’amasomero asooka kukubuuza pulaani ya kizimbe.

Buli kitundu kya Uganda kibeerako n’enkulaakulana eyategekebwa erina okukolebwawo. Bw’otwala pulaani yo okugikakasa gye bakugambira nti mu kifo mw’oyagala okuzimba mulina kubeeramu mudumu gwa kazambi oba layini y’amasannyalaze era bakulabulirawo obutazimbawo.

Gavumenti ne bw’eba ebalirira abantu b’okuliyirira ng’eyagala okukozesa ettaka lyo, atalina pulaani asasulwa kitono n’oluusi okuviiramu awo. Ekizimbe ne bw’oba wakiteeka mu yinsuwa ne kifuna obuzibu, tosobola kusasulwa okuggyako ng’omaze okuleeta pulaani kwe baakakasiza ekizimbe. Olina n’okulaga ebbaluwa eyakukkiriza okuyingira ekizimbe emanyiddwa nga “occupational permit”.

Kiggundu agamba nti omuntu yandibadde afaayo okutegeka awantu ng’azimba. Bwe gabeera maka alina okulekawo ekifo abaana we bazannyira, omuddo w’osobola okuwummulirako n’ekifo w’osobola okusimba waakiri emmotoka bbiri.

Pulaani gye batwala mu KCCA okukakasibwa ebeera mu langi ya bbulu.

OMUKUBI WA PULAANI OMUTUUFU Y’ALUWA?

Omukubi wa pulaani mu Lungereza ayitibwa Architect soma acitekiti. Okufaanana n’abasawo oba bannamateeka, abakubi ba pulaani babeera bakugu abaatendekebwa. Bano batendekebwa okuviira ddala ku by’enkula y’ettaka n’okuzimba.

Kino kitegeeza nti omukubi wa pulaani abeera asobola okulaba omugaso n’obulabe bw’ekintu n’abusalira amagezi nga bukyali. Wadde ng’omuzimbi asobola okukyusa mu pulaani y’ennyumba, alina kukikola nga yeebuuza ku mukubi wa pulaani.

Omukubi wa pulaani amala mu ttendekero emyaka etaano, n’akolera emyaka ebiri nga tannaba kukakasibwa kubeera mukubi wa pulaani omujjuvu. Waliwo ekitongole kya Architects Registration Board, ekyateekebwawo mu mateeka okukakasa abakubi ba pulaani.

Buli mukubi wa pulaani alina okuba ng’alina ebbaluwa emukakasa eyamuweebwa okukola omulimuogwo. Osobola okulaba omukubi wa pulaani oba ddala yakakasibwa ng’okozesa omukutu gwa www. arbuganda.org/. Wano osobola okufuna amannya g’abakubi ba pulaani bonna.

Omukubi wa pulaani alina kukuyamba kutuukiriza kirooto kyo. Nnannyini nnyumba olina okwenyigira mu kukuba pulaani y’ennyumba, era buli kye bateeka ku nnyumba balina okuba nga bakutegeeza n’okakasa nti kijja kubeera kya mugaso gy’oli ne famire yo.

Pulaani nga tenakubibwa, acitekiti alina okusooka okutuuka mu kifo w’oyagala okuzimba n’amala okwetegereza ebintu ng’omusana, entambula y’amazzi, enkula y’ettaka n’alyoka awabula ku kika kya pulaani erina okuzimbibwa ne gy’erina okutunula.

Acitekiti asobola okukuba pulaani y’ennyumba n’akubuulira n’ebizimbisibwa by’olina okukozesa era n’alondoola n’omulimu gw’okuzimba gwonna. Mu nkola entuufu, omukubi wa pulaani yandibadde atuuka mu kifo we bazimba.

Kiggundu yagambye nti mu buli mwezi gwa March ekitongole kya Arhitects Registration Board kifulumya olukalala lw’abakubi ba pulaani ne balufulumya ne mu mawulire ga New Vision. Babeera bagasseeko amannya g’abantu abapya n’okuggyako abamu abatakyatuukana na mutindo. Kyokka abantu balina okwegendereza abakubi ba pulaani abalina enkola y’okufuna sitampu okuva ku muntu omulala.

EMITENDERA GY’OKUFUNA PULAANI Y’ENNYUMBA MU KAMPALA 

Villey Agaba, akulira ebyokuteekerateekera ekibuga mu Kampala Central owa KCCA, yategeezezza nti ayagala okukakasa pulaani y’ennyumba alina kusooka kufuna bukakafu bwa bwannannyini bw’ettaka.

Alina okufuna ekyapa oba endagaano kwe yaligulira. Ettaka bwe libeera erya Kabaka, olina okufuna ebbaluwa ekukkiriza okuva mu Buganda Land Board emanyiddwa nga “Consent letter”. Ebbaluwa y’emu gyolina okufuna okuva ewa nnannyini ttaka ly’ekitongole ng’ekkanisa oba omuzikiti.

Bw’oba walisikira oba ng’oliddukanya ku lwa balala, olina okutwalirako ebbaluwa ezikuwa obuyinza okuliddukanya ezimanyiddwa nga “letters of administration”. Olina okugenda ew’omukubi wa pulaani n’akuteera pulaani gyoyagala ku lupapula. Ku pulaani gy’akubye ku lupapula olwa langi ya bbulu alina okukubako sitampu eri mu langi eya kiragala ng’akakasa nti by’akukubidde y’abikoze.

Kyokka ennyumbabw’eba eya kalina erina okubeerako n’ebifaananyi ebiraga ennyumba bwenaafanana ng’ewedde okuzimba. Kuno omukugu amanyiddwa nga ‘Structural yinginiya’ alina okukubako sitampu ebeera mu langi emmyufu.

Ku nnyumba ya kalina kulina okubeerako n’ebbaluwa okuva ew’omupunta w’ettaka. Abeera akakasa nti ettaka eryogerwako liwera era tolina ttaka lya muntu ly’oyingiridde. Kino bakikola olw’okuba abantu bamanyi okuzimba ebizimbe ebyamaanyi mu ntobazzi oba ettaka ery’omusenyu, eritasobola kubiwanirira.

OKUKAKASA PULAANI Y’ENNYUMBA

Agaba agamba nti omukubi wa pulaani bw’amaliriza okugikuba ogitwala mu kitongole kya KCCA ekya Physical Planning okusobola okukakasibwa.

Olukiiko lwa ‘‘Physical Planning Authority’’ lutuulako abantu abalina obukugu mu by’okuzimba, abakubi ba pulaani, ebebyobulamu, abakugu mu kukuuma obutonde bw’ensi awamu n’abapunta b’ettaka.

Omulimu gwabwe kukakasa nti ebintu byonna ebikolebwa bituukana n’omutindo nga tebimenya mateeka. l Pulaani y’omuntu etunulwamu era esobola okuyisibwa, okugaanibwa oba okulagira bagikyuseemu, abakugu ba KCCA nga bwe babeera balabye. Ezimu ku nsonga ze bayinza okusinziirako okugaana pulaani y’omuntu mulimu: okubeera ng’ennyumba yazimbibwa mu lutobazzi oba ng’eri mu luguudo.

“Gubeera musango okutandika okuzimba nga pulaani y’ennyumba tennaba kukakasibwa, era abeera akikoze asobola bulungi okuvunaanibwa mu mbuga z’amateeka,” Kaujju bwe yagambye. l Abantu abalala bafunye obuzibu, abakwasisa amateeka bwe babamenyedde ebizimbe byabwe olw’okuba tebirina pulaani. Ebizimbisibwa byonna ebiba bisangiddwa mu kifo we bazimba bisobola okuwambibwa era azimba ne bamulagira n’okuwa engassi. l Emu ku nsonga lwaki KCCA esaba abantu pulaani n’ezikakasa nga tebannaba kuzimba, babeera baagala kusooka kukakasa nti kyoyagala okukolerawo kikwatagana n’entegeka ya KCCA ey’okukulaakulanya ekifo ky’ozimbamu.

Ebintu ebirala ebigobererwa nga tebannaba kukakasa pulaani bafuba okulaba ng’ennyumba etuukako ebintu ng’oluguudo, amazzi amayonjo, amasannyalaze. Bino byonna bwe bibeerawo kitwala wiiki bbiri zokka okukakasa pulaani y’ennyumba.

Etteeka lya KCCA Act, 2010 ligamba nti omuntu yenna okuzimba ennyumba mu Kampala n’ebitundu ebiriraanyeewo alina okusooka okufuna olukusa olukakasa pulaani y’ennyumba ye. Kino kikolebwa ekitongole kya Metropolitan Physical Planning Authority.

Mu bbanga lya nnaku 30 ng’omaze okuwaayo ebiwandiiko byo mu KCCA, obeera osobola okufuna okuddibwamu nga bakukkiriza, okugaana oba okukuwa amagezi ku bya pulaani yo.

Buli square meter obeera olina okugisasulira 1000/- mu KCCA. Omuwendo gw’a ssente omujjuvu gusinziira mu mmita z’ennyumba n’okubisaamu buli mmita n’osobola okumanya ssente zennyini z’osasula.

NYAKANA YAFIIRWA EKIZIMBE OLW’OKUZIMBA MU LUTOBAZZI Godfrey Nyakana, ssentebe wa NRM mu Kampala yafiirwako ekizimbe kye mu 2005, bwe kyamenyebwa ekitongole ekivunaanyizibwa okukuuma obutonde bw’ensi ekya NEMA abaamulumiriza okuzimba mu lutobazzi