Gaalubindi ‘entemeko’ ze zirya esswaga

By Musa Ssemwanga

GAALUBINDI ‘entemeko’ ezimanyiddwa nga ‘half shades’ gwe gumu ku misono egikutte akati ensangi zino.

Kuma 350x210

Zisinze kwettanirwa bawala abatambula n’omulembe, nga kino kyasinze kweyolekera mu kivvulu kya Blankets and Wine ekyabadde e Lugogo gye buvuddeko.

Josephine Nankya owa Josh Collections yagambye nti gaalubindi zino ze ziriko ensangi zino.

Zirimu ebika ebiwerako nga zatuumibwa okusinziira ku mannya ga badizayina abatutumufu okugeza nga Armani Exchange, Bulgari, DKNY, Dolce & Gabbana, Giorgio Armani, Polo Prep, Polo Ralph Lauren, Prada n’endala. Zikolebwa mu langi zonna mu bika oba enkula ez’enjawulo nga Square, Pillow, Cat Eye, Butterfl y, Oval, rectangle ne Butterfly.

Yagambye nti waliwo ezikolebwa nga zitangaala ng’osobola okuzambala mu ofi isi.

Waliwo ezirina ebirawuli ebizikivu nga zino zisinga kwambalwa ng’omusana mungi ddala.

Ate abalina obuzibu mu kulaba nabo balina ezaabwe ezitambula n’omulembe. Eby’enkizo ng’olonda gaalubindi ez’ekika kino.

Zirina okukwatagana n’ekikula kya ffeesi yo okugeza owa ffeesi enneetooloovu toyambala zirina busonda bungi. Langi ya ffessi yo nakyo kikulu okugeza, enzirugavu ziyamba okuggyayo ebisige byo obulungi kw’ossa ne sitayiro, langi y’enviiri z’obeera osibye.

Zambalwa abawala abaagala ennyo eby’emisono okuva ku myaka 23 okutuuka ku 32.

Omusono guno gubadde tegukyalabika nnyo ku katale wabula bw’oba ozifunye zigula 60,000/-.