Engeri gy’ozuula mekaapu egendera ku lususu lwo

By Musasi wa Bukedde

ABAWALA bangi balungi naye nga tebeezuulanga nti Katonda yabawunda yeegendereza. Lauia Bint Sayidi 23, ow’e Salaama ng’akola gwa kuyooyoota bakyala ng’asiiga mekaapu agamba nti mekaapu kye kintu ky’atasuulirira kuba amwongerako okulabika obulungi. Bino yabinnyonnyodde LAWRENCE MUKASA

Pa1 350x210

Abawala oluusi balemwa okwezuula ne bawunzika nga beeyonoonye. Nze okuva lwe nakimanya nti ndi muwala mulungi, nfuba okulaba nti obulungi bwange tebuneeyoleka ku mikolo wokka.

Omuwala bw’ayiga okufa ku lususu lwe ne kiraasi ye erinnya. Okukuuma olususu lwange nga lwaka ndusiiga ka kuliimu ka ‘Markalic cream’ ne woyiro waakwo nga bino byonna mbigula 350,000/- okuva e London oba oluuusi mu Nakumat.

Bino binnyamba okucamula olususu lwange ne lwongera okutangaala, ate nga bigobamu n’enkanyanya n’endwadde z’ensusu endala, akasusu ne kabeera ng’aka bbebi.

Mekaapu naye simusuulirira era ffeesi yange ngiwa obudde okugiyooyoota. Ate engeri gyendi omukugu mu bya mekaapu, nange nteekwa okwekolako okwongera okusikiriza bakasitoma. Omuntu yenna bw’aba alonda mekaapu kirungi ne yeewala oyo akulukuta.

Ekimu ku bika nze bye nettanira kyekya Mac. Ono takulukuta ate alabisa bulungi omuntu ng’amwesiize. Ekisinga obukulu kwe kufuna ekika ekigendera ku lususu lwo.

Kino okifuna ng’osoose okweyisaako ku lususu lw’oku mikono okuzuulira ddala langi ekugenderako.

Bw’olaba ng’ayingira bulungi munda mu lususu olwo aba ajja kukugenderako.

 int ayidi mu mpale za jjiini zasinga okwettanira Bint Sayidi mu mpale za jjiini z’asinga okwettanira.

Ekisige nakyo nfuna omukugu akikomola n’akyenkanyankanya bulungi, olwo ne ndyoka nkisiigako ekkalaamu okusinziira ku langi z’engoye ze mba ηηenda okwambala. Ku mimwa nsiigako lipusitiiki wa langi ezisukka mwemu.

Okugeza bwe nsookako emmyuufu olwo ku ngulu nzizaako ppinki olwo ne nnyongera okwaka.

Ebintu bye nkozesa mu kwewunda mbigula 500,000/-, wabula bisobola okummazaako omwaka mulamba n’emusobyo. Ebintu ebirala ebikuumira Sayid ku mulembe mulimu;

ENVIIRI

Omuwala ng’otambula n’omulembe oteekwa okuba nga wettanira okuvumbula. Nze nfuba okunoonyereza ku bika by’enviiri ebimeruka buli lunaku era ne nfuba okulaba nti mbyettanira.

Ekirungi nti buli musono gunnyumira wabula ntera kusiba Braids, Penso omunene, Chrochetes n’ebirala mu langi okusingira ddala enzirugavu.

Enviiri nzisibira ku William Street mu Kampala ew’omukyala gwe bayita Jackie era nga nzisibira wakati wa 150,000/- ne 200,000/- okusinziira ku nkyemba njagadde okusiba.

ENGOYE

Engeri gyendi mweru ate nga n’omubiri gwange mutono, engoye eziraga amagulu nazeenenya, kubanga oluusi teganyumira mu misono gino, ate nga n’eddiini yange tekkiriza kwambala bimpi.

Kyenva ntera okwambala empale empanvu n’ebiteeteeyi ebiwanvu ebibikka omubiri gwange.

 nviiri nazo tazisuulirira Enviiri nazo tazisuulirira.

Empale nzigula wakati wa 20,000/- ne 30,000/- ate bbulawuzi nzigula wakati wa 15,000/- ne 20,000/-, olwo ebiteeteeyi ne mbigula okutandikira ku 80,000/- n’okudda waggulu. Nnina edduuka mu Kampala gye ntera okugula bye nnyambala.

ENGATTO

Saagala nnyo kukaluubiriza mubiri gwange kyenva sambala ngatto za bukondo buwanvu kubanga bw’ozambala oteekwa okuba omwegendereza ng’otambula.

Nsinga kwambala engatto za fulaati ne kanvaasi kuba buno tebutawaanya ate nga bwangu okwambala n’okukoleramu emirimu. Engatto zigula wakati wa 30,000/- ne 50,000/- ew’omukyala gwe bayita Sasha ku Capital Center mu Kampala.

FFIGA

Sirina kya njawulo kye ndya okukuuma sayizi kubanga ndya emmere yonna. Ekirala kye nagaana kwe kulumya omubiri gwange nga nsiiba enjala nsobole okukogga.

Mpozzi olw’olumu ηηendako mu jjiimu ne mikwano gyange ate nga ne ovakkedo tatera kubula ku mmere yange ne bwe kiba ekyenkya.

ENJALA

Ng’omuwala atambula n’omulembe ate nga nkola kya kuyooyoota bawala bannange, nteekwa okubeera ekyokulabirako eri bakasitoma bange.

Enjala kintu kikulu nnyo ku ndabika y’omuwala, nze ku zange nsiigako cutekisi era ng’ono mukyusa buli luvannyuma lwa wiiki ne nteekako omulala ate nga n’engalo zange nzikuuma nga nnyonjo era nga zino nsiigira 20,000/- buli lwemba nsiize.