Omusono gw’ekikoola gwettaniddwa abawala

By Musasi wa Bukedde

BULI olukya abantu bavumbula ebipya ebibakuumira ku mulembe, era ebibafuula ab’enjawulo.

Teekako 350x210

Dante Daphine Kateregga 23 ow’e Seguku nga mukozi wa mekaapu y’omu ku bawala abatambula n’omulembe era eyeekuumira mu kiraasi eya waggulu.

Kateregga ekimu ku bintu ebimufuula ow’enjawulo kwe kusala enviiri n’ateekamu sitayiro ez’enjawulo.

Ensangi zino yasala omusono gw’ekikoola ogumanyiddwa nga Leafl et Style’.

Wano basala enviiri ne bateekamu sitayiro y’ekikoola era nga bwe zikula ng’addayo mu saluuni nga bazizza buggya.

Agamba nti zino zimumalako 300,000/ buli lw’agusala. Sitayiro y’ekikoola eno agisalira ku Precious Curts ku Kisementi, era nga Mart Baber y’amusaala enviiri zino.

Ono agamba nti omusono guno gunyumira abawala nga beeru ate ng’emyaka gikyali mito ddala.

Mart agamba nti enviiri zino ekirungi ekiziriko nti teziboola nnyo ngoye ate nga n’emikolo wonna zituuka era omuntu azisaze atwala ebirowoozo bya buli amulabyeeko.

Ayongerako nti; Enviiri zino si za bawala bokka wabula n’abasajja abatambula n’omulembe basobola okuzisala era agamba nti omuntu amusala sitayiro ng’asinziira kw’ekyo ky’ayagala, enkula y’omutwe gwe n’endabika ye n’amusala ekinaamunyumira.

Mart yagambye nti sitayiro endala z’asala mulimu ‘fi sh style’, ‘face style’ ‘under curt’, V-shaped style, n’endala.

Agamba nti enviiri zino zitwala obudde buwanvu ate nga zeetaagamu n’obumanyirivu y’ensonga lwaki abatera okuzisala baziseerera ddala.