Olususu ndusiiga woyiro w’ekinazi - Minisita Rosemary Ssenninde

By Musasi wa Bukedde

Mukyala munnabyabufuzi era ye minisita w’ebyenjigiriza ebisookerwako. Wadde alina emirimu mingi omuli n’egy’okulambula abalonzi be, buli kiseera abeera anyirira. Olususu lwe lunyirira okukira olwa bbebi.

Gattawo 350x210

Agamba nti ekyama ky’olususu lwe kiri mu woyiro w’ekinazi (Coconut Oil) nga talina kirala ky’ateeka ku mubiri gwe okuggyako ssabbuuni wa ‘Dettol’ gw’anaaba.

Bw’amaliriza okunaba nga yeesiiga ennazi ku lususu lwe okulabika obulungi. Talina wadde embalabe oba obutulututtu.

Ennazi alina omukyala agimuleetera okuva e Kenya era liita egula 60,000/-.

Eno emumazaako emyezi mukaaga. Bwe kituuka mu ngoye, ayambala biwanvu kubanga yakuzibwa nga bamugamba nti okulaga entumbwe mu bantu kyesittaza. Engoye z’ayambala azigula okuva ku 100,000/- okudda waggulu.

Atera kwambala gomesi kubanga buli lw’azambala muli awulira ng’aggumidde era abeera mukyala wa buvunaanyizibwa.

Engoye endala z’ayambala mulimu ebitengi n’obusuuti, wabula empale empanvu tazambala, okuggyako ng’agenda kukola dduyiro.

Mulongo Nakato y’amutungira gomesi z’ayambala era nga kino akikoze okumala emyaka 15.

Matiiriyo ya siriki tatera kugyambala kubanga nzibu okuyonja n’okukuuma.

Ku nsonga y’engatto, ayambala eza langi enzirugavu kubanga tezitera kuboola ngoye wabula nga ne langi endala azambala ate asinziira ku lugoye lw’ayambadde n’alyoka alonda engatto egenderako. Wabula tayambala kakondo kawanvu nnyo kubanga ayagala nnyo ebimuwa emirembe.

Engatto agula okuva ku 150,000/- n’okudda waggulu. Enviiri ze tazisiba kubanga talina budde. Yali azisiba wabula ng’alaba zimutwalira obudde kwe kusalawo azisaleko.

Okuzikuuma nga zirabika bulungi, azitwala mu saluuni buli lw’alaba nga zikuze ne bazitoolako.

Wano asasula 15,000/- buli lusala n’okuddaabiriza.