Neesiiga meekaapu agendera ku lususu lwange

By Musasi wa Bukedde

NDI muwala mutono era muddugavu. Neesiiga meekaapu agendera ku lususu lwange.

Kuba 350x210

NDI muwala mutono era muddugavu. Neesiiga meekaapu agendera ku lususu lwange.

Ntera kukozesa ow’ekika kya MAC kubanga ono akuleka ku bbala ly’olususu lwo, naddala bw’oba oguze oyo agenderako.

Ekizibu abawala abamu kye bakola kwe kumala gagula mekaapu nga tebasoose kwebuuza ku babitegeera ekika ekigendera ku lususu.

Ekivaamu ye muwala omuddugavu okwesiiga meekaapu w’abeeru atamugenderako.

Ku maaso nsiigako wanja okuggyayo eriiso lyange eryeru, ate ku mimwa ne nsiigako ka lipusitiiki ekika kya Sleek Gloss atakulukuta.