Ekkooti z’omu 1970 ze ziriwo

By Musasi Wa

ABAYIIYA b’emisono ennaku zino beesibye ku misono gy’emyaka egyayita nga kati mwe bayiiyiza ebipya ne babizza ku katale.

Bya DIANA NALUNKUUMA

ABAYIIYA b’emisono ennaku zino beesibye ku misono gy’emyaka egyayita nga kati mwe bayiiyiza ebipya ne babizza ku katale.

Ogumu ku misono ogwaliwo mu 1970 ogukomyewo gwe gw’ekkooti empanvu ezibikka amaviivi.

Ekkooti zino zaaliwo nnyo era ng’agyambadde ayambalirako engatto za ‘jungla boot’ ezisibira mu ntumbwe.

Ekkooti zino zisinze kwettanirwam bassereebu n’abawala abamanyi okulya obulamu.

Ekigendererwa ky’okwambala ekkooti ez’ekika kino kyasooka kubeera kwetangira bunnyogovu.

Mu ngalo baayambalirangamu enkampa(gloves), wabula emirembe bwe gyagenda gikyuka ne gufuukira ddala omusono.

Ekkooti zino ezaayambalwanga edda zaabanga nzito, wabula ez’ennaku zino zitungibwa nga mpewufu. Zisinga kutungibwa mu matiiriyo ya ‘leather’.

Osobola okugyambala nga tosibye mapeesa, olwo olugoye lw’oba oyambalidde munda ne lusigala nga lulabika bulungi.

Engatto za ‘jungle’ ezisibira mu ntumbwe ze bambalirako olwo ne bagenda okulya obulamu.

Ekkooti zino zikyuseemu nga kati waliwo ezitungibwa nga nnyimpi ddala. Zino bazambalirako sikaati ennyimpi n’engatto za ‘jungle’, oba okuyambalirako empale empanvu naddala eya jjiini.

Mu kifaananyi (ku kkono) Abakyala nga bambadde ekkooti empanvu n'engatto za 'jungle' mu gya 1970

Ekkooti z’omu 1970 ze ziriwo