Cutekisi amala emyezi mwenda ku njala

By Musasi wa Bukedde

ABAYIIYA emisono buli olukya baleeta ebyongera okugonza obulamu. Mu biyiiyiziddwa mwe muli ne citekisi asiigibwa ku njala ng’asobola okumalako emyezi mwenda nga tasiimuuseeko, wabula ng’atambula n’olwala okwefaanaanyiriza nga ‘henna’ bw’abeera.

Yaga 350x210

Cutekisi ono ayambye abakyala n’abawala bangi abatalina budde kugenda mu saluuni buli kiseera okubasiiga enjala.

Kino kitegeeza nti bw’omusiiga ng’olubuto lwakagwamu otuuka kuzaala ng’akyaliko, naddala bw’oba ng’enjala zo tezikula nnyo.

Patrick Mukisa ayooyoota enjala z’abakyala mu Kampala yagambye nti abadde afuna nnyo bakasitoma abakola naye abatalina nnyo budde bwa njala buli kiseera.

Bano babadde beemulugunya nti cutekisi gwe basiiga ku njala ku wiikendi, we lutuukira Olwokusatu ng’atandise okusiimuuka, ekirabisa obubi enjala.

Mukisa yagambye nti cutekisi ono ali mu langi zonna, wabula ekimwawula nti akalira mu kyuma kye bayita ‘Gel Machine’ era ng’alabika okusinga owa bulijjo. Bamusiigira 30,000/-.