Ebiyamba olususu olw’entondo okunyirira

By Musasi wa Bukedde

ABAKYALA bangi abalina ensusu ez’entondo abatawaana nga banoonya ebizigo ebikola obulungi ku nsusu zaabwe nga tebibeerusizza ate nga tebibazigamizza.

Mana 350x210

Era bangi bagezezzaako bingio naye nga tebikola, n’ekivaamu kwe kukozesa byonna bye baagadde, ekireetera ensusu zaabwe okwongera okwonooneka.

Abakugu mu by’ensusu bagamba nti ggwe alina olususu olw’entondo, waliwo ebizigo by’otolina kubuusa maaso.

Shea Butter: Ono akolebwa mu kibala ekiva ku muti gwa ‘Shea’.

Wano mu Uganda emiti gino gisinga kusangibwa mu bitundu by’obukiika kkono naddala mu West Nile.

Abantu beeno ekibala kino bakikolamu butto gwe basiiga abaana okuva mu buto ne baba n’ensusu ezigonda.

Butto ono era y’akolebwamu ebizigo bya ‘Shea Butter’ era ono naye ayamba ensusu ez’entondo.

Butto w’olutungotungo naye akola bulungi ku nsusu. Ono bw’omwesiiga ku lususu alukuuma nga luweweevu era ne lutakala.