Omusono gw’okwesuulira bagutaddemu ebisoko

By Musasi wa Bukedde

OMUNTU ategeera emisono abeera n’abantu be yeegomba okufaanana. Okugeza abawala n’abakyala bangi wano ne mu nsi yonna abeegomba munnamisono, Kim Kardashian olw’emisono gy’ayambala egy’omulembe.

Pula 350x210

Ogumu ku misono Kardashian gwe yayambalanga ne gukwatayo gwe gw’okwesuulira (Throw- on).

Ennyambala eno yettanirwa nnyo abawala wabula bangi ate abamu batuuse okugwambala ekifuula nnenge.

Ennaku zino abawala bangi abeesuulira buli kye basanze omuli bbulawuzi, obusweta, jaketi ne kalonda omulala.

Omusono gwa ‘Throwon’ gutungibwa ng’ekkooti eyo tesobola kwambalwa era ng’ogyesuulira ku bibegabega, nga munda oyambaliddemu bbulawuzi oba osobola okugisuulira ku kiteeteeyi naddala nga kya musalankwawa.

Grace Kasumba omukugu mu by’emisono yagambye nti omusono guno guluddewo, wabula buli kiseera bagwongeramu ekyenjawulo.

“ Bw’oba waakugwambala, kirungi oosooke wekkaanye olugoye kw’ogenda okusuulira akakooti ako. Gutera kunyumira ku ‘jump suit’, leegingi, Patra, jjiini ezisibira mu lubuto n’ebirala bwe bityo.”

Yagambye nti kyokka abamu ennaku zino bayiiyiza okwambala obukooti n’amasaati mu ngeri ya ‘Throw on’.

Kino si kibi, era oli bw’aba alonze akakooti akalungi anyuma. Okugeza obumpi bwettanirwa nnyo ababa bagenda mu ofi isi, ate empanvu zettanirwa abacakaze.

Ennyambala eno ewa kiraasi eri abo abakulaba kubanga wadde guluddewo naye era gwambalwa abo abategeera ebyokwambala. Zigula okuva ku 30,000/- n’okudda waggulu okusinziira ku matiiriyo.