Enviiri za langi ezaaka zinfuula wanjawulo

By Musasi wa Bukedde

ABAWALA bangi balowooza nti okutambula n’omulembe kitegeeza kwambala kwokka, ekitali kituufu. Ne bw’oyambala n’onyuma naye enviiri n’otofaayo kusibamu oba okusanirira omusono ogukunyumira, by’oyambadde biyinza obutavaayo. Martha Naluggya 24, ow’e Makindye mukubi wa bifaananyi ate ng’akwata ne vidiyo z’ennyimba. Muwala mwambazi eyeezuula era talina w’ayita n’atatwala birowoozo by’abo abamulabye.

Wata 350x210

Yannyonnyodde LAWRENCE MUKASA ebintu eby’enjawulo ebimukuumira ku mulembe ENVIIRI Enviiri ziweesa ekitiibwa era omuwala ne bw’aba tayambadde bya bbeeyi wabula ng’enviiri asibye za bbeeyi, zimulabisa bulungi.

Nze nazuula nti ssinga nsiba enviiri eza langi ez’enjawulo ate nga mpanvu, ndabika bulungi era kiba kizibu okubeera awantu ne batandaba.

Wiivu zino ze nsiba zibeera za ‘human’ era nga ntera okusiba mu langi ezaaka, abawala abasinga ze batya okusiba. Wiivu zino zinyuma ng’agisibye amanyi okutobeka langi, ate engeri gye siri muddugavu nnyo, kiyitirira.

Nnina omukugu wange ansiba wiivu nga bamuyita Maama Lawrence e Makindye. Wiivu nzisibira 100,000/- okudda waggulu.

ENGOYE

Zino ze zikulembera obulungi bw’omuwala omwambazi. Abantu bangi bakungiriza obulungi bwange nga basinziira ku ngoye ze nyambala.

Omuwala yenna atambula n’omulembe olina okusooka okwezuula n’amanya ebimunyumira n’ebitamukolera. Nze olugoye olutankwata mubiri sirwambala ne nfuluma ennyumba, kuba nakizuula nti ebinkwata bye binnyumira.

Wabula langi ezaaka ennyo nzigenda mpola kubanga oluusi ziyiza okulwanagana n’enviiri zemba nsibye.

Engoye ze nnyambala ne bwe ziba za layisi kizibu omuntu okuzimanya kubanga mmanyi okulonda ebinnyumira. Nnyambala ‘jump suit’, obuteeteeyi obuwanvu n’obumpi, jeegingi, leegingi, empale empanvu n’ebirala. Engoye nzigula okuva ku 20,000/- okudda waggulu mu maduuka ag’enjawulo mu Kampala.

OLUSUSU

Buli lwe nzuukuka ku makya naaba amazzi agabuguma. Bwe maliriza ne nfuna enniimu ne ngikamulira mu magi amabisi nga mulimu omubisi gw’enjuki n’obuwunga bwa muwongo ne mbitabula bulungi ne binoga ne neesiiga omubiri ne mbimazaako eddakiika 40, oluvannyuma ne mbinaabamu. Kino nkikola emirundi ebiri mu wiiki.

Kinnyamba okuzibukula obutuli bw’omubiri n’okulwanyisa endwadde z’omubiri n’okulukuuma nga luweweevu.

Bwe mmala okunaaba, neesiiga akazigo k’abaana aka Vaseline nga nkagula 5,000/- mu maduuka agatunda ebizigo. Kano kannyamba okukuuma olususu lwange nga luli ku bbala lyalwo ate nga luweweevu.

ENGATTO

Waliwo lwe nsiba wiivu empanvu ne nteekamu n’engatto z’akakondo akawanvu ne ntambula mu kkubo mu ngeri erumya n’okwekiririzaamu era bwe mpita ku musajja n’atakyuka kuntunulira awo nga nmannya nti oyo muzibe.

Njagala nnyo engatto z’obukondo obuwanvu ne ‘jungle boot’ kuba zino zongera ku kiraasi yange n’okumpa entambula. Engatto nzigula okuva ku 80,000/- okudda waggulu.

EBYOKWEWUNDA

Bwe namala okwezuula nti obulungi bwange si bwa kwogerera, ebyokwekolako tebitwala nnyo budde bwange kubanga ne bwemba seekozeeko nsobola okuvuganya ne bano ba ‘bulungi bweyoleka ku mikolo’.

Bwemba neekubye mekaapu nkozesa ekika kya Mac, omuli ‘foundation’, lipusitiiki n’ebirala. Ekisige nakyo sikisuulirira okukikomola n’okukisiiga mu ngeri ekinyumisa. Ebintu ebirala omuli emikuufu, essaawa, obukomo nabyo mbyambala okusinziira ku kifo gye ηηenda, n’engoye ze nnyambadde.

ENJALA

Zino Katonda yazimpa nga kirabo era nzenyumirizaamu kuba nnungi ate nga zindabisa bulungi. Zino nzisiigako kacutekisi mu langi ezaaka kubanga nazo zongera ku bulungi bwange era nga nzisigira 20,000/- e Makindye buli luvannyuma lwa wiiki.

ENSAWO

Nze ng’omuntu saagala nnyo bintu bimmalako mirembe. Y’ensonga lwaki ntera kukwata busawo obutono obw’omu ngalo kasita kaba nga kagyaamu ebyo bye neetaaga, ate nga nsigala neetaaya.

Saagala kwetikka mugugu gwa nsawo kubanga gummalako emirembe. Obusawo buno mbugula okuva ku 10,000/- n’okudda waggulu okusinziira ku musono gwe nguze n’ekifo we nkaguze.