Ennyumba etennaggwa yeetaaga obukuumi

By Musasi wa Bukedde

RONALD Ssemujju ow’e Mukono agamba nti okutandika okuzimba ennyumba nga teweetegese bulungi oyinza okufuna ebizibu.

Kwata 350x210

Agamba nti yafuna ssente n’asalawo okutandika okuzimba. Ssente zaagenda okuggwaawo ng’ennyumba etuuse ku woolopuleeti.

Engeri gye yali tabeera kumpi ne sayiti, teyakirowoozaako nti mu kitundu mulimu abantu ababi n’abatamwagaliza.

Mu kusooka abavubuka b’oku kyalo ennyumba ye baagifuula loogi n’okunyweramu enjaga era nga buli lwagendayo asangamu obupiira obukozese.

Ekyaddako batuuze kutandika kwemulugunya ng’ennyumba yange bw’ekuhhaanya abamenyi b’amateeka abatawaanya ekitundu.

Waayita emyezi ebiri abavubuka bano ne battiramu omuntu ne bankwata ne bansiba ng’abatuuze balumiriza nti bahhamba ku bantu bano ne sibafaako.

Kati nkubiriza buli azimba ennyumba n’etuuka ku mutendera ogumu okufaayo okuteekawo obukuumi okwewala ebizibu nga bino.

Bwe nava mu kkomera ennyumba ne ngitunda nga bintamye.